Zechariah 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndyekuumira ennyumba yange eri amagye agagisaalimbiramu. Teri anyigiriza aliddamu kubafuga, kubanga kati ntunula nkaliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ndirwanirira ennyumba yange eri eggye eddumbaganyi, so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange kubanga kaakano mbalabirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange nnaasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuuma ensi yange, ne nziyiza amagye okugiyitamu. Sirireka bantu bakambwe kwongera kunyigirizanga bantu bange, kubanga kaakano ndabye engeri abantu bange gye babonaabonamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange naasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange.