Zephaniah 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo,” y'agamba Omukama, “enduulu eriwulirwa ku Mulyango gw'Ebyennyanja, ebiwoobe okuva mu Kibuga Ekiggya, n'okubwatuka okunene okuva mu busozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja, okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri, n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwati bw'ayogera Mukama nti, “ku lunaku luli, walibaawo okukaaba ku mulyango ogw'Ebyennyanja ogw'omu Yerusaalemi, n'okutema emiranga mu kitundu ekiggya eky'ekibuga, n'okubwatuuka okw'amaanyi okuva ku busozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ku lunaku olwo walibaawo okukaaba ku Mulyango gw'Ebyennyanja ogw'omu Yerusaalemu, n'okutema emiranga mu kitundu ekiggya eky'ekibuga, n'okubwatuka okw'amaanyi okuva ku busozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, walibaawo eddoboozi ery'okuleekaana eriva ku mulyango ogw'ebyennyanja, n'okuwowoggana okuva mu luuyi olw'okubiri, n'okubwatuuka okunene okuva ku nsozi.