Zephaniah 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Yeruzaalemu ndimunoonya n'ettawaaza, ndibonereza abasajja abagejjedde ku bisejja by'omwenge gwabwe, abalowooza mu mitima gyabwe nti: ‘Omukama talina ky'anaakola, kirungi oba kibi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya, mbonereze abo bonna abalagajjavu abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa, abalowooza nti Mukama talibaako ne ky’akolawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka mu biro ebyo ndikwata ettaala ne nfuuza Yerusaalemi, era ndibonereza abantu abalowooza nti bali bulungi, abatalina kye beeraliikirira, era abalowooza nti, ‘Mukama taliiko ky'akola, ka kibe kirungi oba kibi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo mu kiseera ekyo ndikwata ettaala ne nfuuza Yerusaalemu. Ndibonereza abantu abali obulungi, abatalina kye beeraliikirira, era abagamba nti: ‘Mukama taliiko ky'akola, ka kibe kirungi oba ekibi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka mu biro ebyo nditaganjula Yerusaalemi n'ettabaaza; era ndibonereza abasajja abatesengezze ebbonda lyabwe, aboogera mu mutima gwabwe nti Mukama talikola bulungi so talikola bubi.