Zephaniah 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyabwe birinyagululwa, n'ennyumba zaabwe balizaaya; balizimba amayumba, naye tebaligasulamu; balisimba emizabbibu, naye tebaliginywako mwenge.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe. Ne bwe balizimba ennyumba tebalizituulamu, era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo tebalinywa wayini wamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n'ennyumba zaabwe zirifuuka matongo. Weewaawo, balizimba amayumba naye tebaligasulamu, era balisimba ensuku ez'emizabbibu naye tebalinywa ku mwenge gwamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n'ennyumba zaabwe zirifuuka matongo. Tebalisula mu mayumba ge bazimbye, wadde okunywa omwenge ogw'emizabbibu gye basimbye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obugagga bwabwe bulifuuka munyago, n'ennyumba zaabwe matongo; weewaawo, balizimba ennyumba naye tebalizituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu naye tebalinywa mwenge gwamu.