Zephaniah 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku lw'Omukama olukulu luli kumpi, luli kumpi, ate lujja mangu. Eddoboozi ly'olunaku lw'Omukama nga kkaawu, omutabaazi aleekaanira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi; ddala lunaatera okutuuka. Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi, n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi, ddala lusembedde, era lwanguwa mangu. Olunaku luliba lwa kubonaabona! n'omulwanyi omuzira alikaaba olw'obuyinike obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi okutuuka. Lusembedde, era lwanguwa mangu. Olunaku lwa Mukama luliba lwa kubonaabona! N'omulwanyi omuzira alikaaba olw'obuyinike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo, eddoboozi ery'olunaku lwa Mukama; omusajja ow'amaanyi alikaabira eyo ng'aliko obuyinike bungi.