Zephaniah 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike na nnaku, lunaku lwa kuzikirira na kufa, lunaku lwa lufu na kazigizigi, lunaku lwa bire na kalenge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku, lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira, olunaku olw’ekikome n’ekizikiza, olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olunaku olwo luliba lunaku lwa busungu, lwa buyinike n'okulaba ennaku, lunaku lwa kuzikirira na kuggwaawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lunaku lwa bire n'ekizikiza ekikutte!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Luliba lunaku lwa busungu, lwa buyinike, na kubonaabona, lwa kuzikirira na kuggwaawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lwa bire n'enzikiza ekutte!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n'okulaba ennaku, lunaku lwa kuziikirako n'okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte,