Zephaniah 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndirabya abantu ennaku, balitambula nga bamuzibe, kubanga baakola ekibi eri Omukama. Omusaayi gwabwe guliyiika ng'enfuufu, n'ebyenda byabwe ng'obusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndireeta, obuyinike ku bantu, batambule ng’abazibe b’amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu, n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abazibe b'amaaso, kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama, omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'emirambo gyabwe girisuulibwa ng'obusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndireeta obuyinike obwo ku bantu, batambule nga bamuzibe, kubanga bakoze ebibi ebinnyiiza. Omusaayi gwabwe guliyiibwa ng'amazzi, n'emirambo gyabwe girisuulibwa ng'obusa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abazibe b'amaaso, kubanga bayonoonye Mukama: n'omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'omubiri gwabwe ng'obusa.