Zephaniah 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ffeeza waabwe ne zaabu tebirisobola kubawonya, ku lunaku lw'obusungu bw'Omukama; mu muliro gw'ebbuba lye ensi yonna eriwemmentebwa, kubanga ajja kumalirawo ddala, ate mbagirawo, bonna abasula ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubataasa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro gw’obuggya bwe, era alimalirawo ddala abo bonna abali mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama, effeeza ne zaabu waabwe tebiriyinza kubawonya. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro ogw'obusungu bwe, kubanga alimalirawo ddala n'entiisa abo bonna abali mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo Mukama lw'aliragirako obusungu bwe, wadde ffeeza ne zaabu waabwe tebiriyinza kubawonya. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro ogw'obusungu bwe, kubanga alisaanyaawo, alimalirawo ddala bonna abali ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Effeeza yaabwe teriyinza kubawonyeza ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama newakubadde ezaabu yaabwe; naye ensi yonna omuliro ogw'obuggya bwe guligyokya: kubanga alimalawo, weewaawo, alimalirawo ddala n'entiisa abo bonna abali mu nsi.