Zephaniah 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“nzija kwerawo abantu n'ebisolo; nzija kwerawo ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebyennyanja mu nnyanja. Ababi ndibazikiriza; nzija kusaanyaawo abantu bonna wonna ku nsi,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo; ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebyennyanja; ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo; bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abantu bonna n'ensolo, n'ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebyennyanja wamu n'abakola ebibi bonna. Ndizikiririza ddala abantu obutalekaawo n'omu. Nze Mukama nze njogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abantu bonna n'ensolo, n'ebinyonyi n'ebyennyanja era ndisanyaawo aboonoonyi. Ndizikiriza abantu obutalekaawo n'omu. Nze Mukama nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndimalawo omuntu n'ensolo; ndizikiriza ennyonyi ez'omu bbanga n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'enkonge wamu n'ababi: era ndimalawo abantu okuva ku maaso g'ensi, bw'ayogera Mukama.