Zephaniah 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukono gwange nzija kugugololera ku Yuda ne ku bonna abasula mu Yeruzaalemu; mu kifo kino nzija kukutulako buli baasigalawo aba Baali, n'amannya g'emmandwa ne bakabona be,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndigololera ku Yuda omukono gwange, era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali, bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ndibonereza ab'omu Yuda, n'ab'omu Yerusaalemi bonna. Ndizikiriza abasinza Baali abakyasigaddewo mu kifo ekyo era tewalibaawo ajjukira bakabona be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndibonereza ab'omu Buyudaaya, n'ab'omu Yerusaalemu bonna. Era ndizikiriza abasinza Baali, abakyasigaddewo mu kifo ekyo, waleme kubaawo wadde ajjukira bakabona be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndigololera ku Yuda omukono gwange ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ndimalawo ekitundu kya Baali ekifisseewo okuva mu kifo kino, n'erinnya lya Bakemali wamu ne bakabona;