Zephaniah 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abo abayima ku busolya ne basinza eggye ly'eggulu, n'abo abasinza ne balayira Omukama, n'abo abalayira Milukomu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu ku nnyumba waggulu, ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama, ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndizikiriza n'abo abalinnya waggulu ku nnyumba ne basinziza enjuba n'omwezi n'emmunyeenye. Ndizikiriza n'abo abasinza Mukama, ate era ne balayira ne katonda Malukamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizikiriza buli muntu alinnya waggulu ku nnyumba n'asinza enjuba n'omwezi era n'emmunyeenye. Ndizikiriza n'abo abasinza nze Mukama, ng'ate balayira lubaale Milukomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abo abasinziza eggye ery'omu ggulu ku nnyumba waggulu; n'abo abasinza, abalayirira Mukama nga balayira Malukamu;