Zephaniah 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo nzija kubonereza ababuuka omwango, abajjuzizza ekiggwa kya mukama waabwe n'obukambwe n'enkwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko, n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango ne basinza, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe eby'obukambwe n'obulimba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibonereza abo bonna abaziza okulinnya ku mwango gw'omulyango, era abajjuza ennyumba ya mukama waabwe eby'obukambwe n'obukumpanya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe ekyejo n'obulimba.