Zephaniah 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo kye kiribatuukirira olw'okwekuza kwabwe, kubanga baavuma n'okwewaanira ku bantu b'Omukama w'Amagye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe, kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo y'eriba empeera yaabwe olw'amalala gaabwe, kubanga bavumye era ne beekulumbaliza ku abantu ba Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'e Mowaabu n'ab'e Ammoni bwe batyo bwe balibonerezebwa olw'okwekulumbaza kwabwe, n'olw'okuvuma abantu ba Mukama Nnannyinimagye
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'amalala gaabwe kyebaliva babeera n'ekyo, kubanga bavumye abantu ba Mukama w'eggye ne babeegulumirizaako.