Zephaniah 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alibabeerera ntiisa, kubanga alitoowaza balubaale bonna ab'ensi; balimusinza buli omu mu kifo kye, byonna ebizinga by'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama aliba wa ntiisa gye bali bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi. Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza, buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama aliba wa ntiisa gyebali, bwalitoowaza bakatonda bonna ab'ensi zonna. Kale abantu bonna balimusinza, buli muntu asinziira mu nsi ye ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alibatiisa. Alitoowaza balubaale bonna ku nsi. Ab'amawanga gonna balimusinza, nga basinziira mu nsi zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama aliba wa ntiisa gye bali: kubanga alikozza bakatonda bonna ab'ensi zonna; kale abantu balimusinza, buli muntu ng'ayima mu kifo kye, ebizinga byonna eby'amawanga.