Zephaniah 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagana galigalamira omwo mu kyo, na buli kisolo kyonna; ekiwuugulu eky'amatu ne nnamunnungu birisulanga ku mpagi zaakyo, ekiwuugulu kiriwulugumiranga mu ddirisa, ne nnamuŋŋoona alikaabiranga mu mulyango, kubanga enzizi z'entolookyo ziribikkulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo, n’ensolo zonna eza buli kika: ekiwuugulu era ne nnamunnungu banaasulanga ku mpagi zaakyo. Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa; kafakalimbo ajjudde mu miryango, n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kirifuuka ekifo omunaagalamiranga amagana, n'ebisolo byonna ebya buli ngeri. Ebiwuugulu binaasulanga mu bifulukwa byakyo, biwuugulirenga mu madirisa. Emiryango girimenyebwamenyebwa, n'enjola ez'emivule ziryerulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kirifuuka ekifo omunaagalamiranga amagana, n'ebisolo byonna ebya buli ngeri. Ebiwuugulu binaasulanga mu bifulukwa byakyo, biwuugulirenga mu madirisa. Binnamuŋŋoona binaakaabiranga mu miryango. Emiti emyole egya keduro giriggyibwa ku bizimbe byakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ente zinaagalamiranga wakati mu kyo, ensolo zonna ez'amawanga: kimbala era ne nnamunungu banaasulanga ku mitwe gy'empagi zaakyo: eddoboozi lyabwe linaayimbiranga mu madirisa; okuzikirira kunaabanga mu miryango: kubanga ayerudde enjola ez'emivule.