Zephaniah 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ky'ekyo ekibuga eky'amasanyu, ekyetuuliranga entende, ekyerowoozangako nti: “Nze ndiwo, era teri mulala.” Laba bwe kifuuse amatongo, enfo y'ebisolo! Buli ayitawo afuuwa kiwa, n'akuba mu ngalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye kibuga ekya kyetwala, ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti, Nze we ndi, tewali mulala wabula nze: nga kifuuse bifulukwa, ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira! Buli muntu akiyitako aneesoozanga n’akinyoomoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo bye birituuka ku kibuga ekyenyumirizanga olw'obuyinza bwakyo, ne kirowooza nti tekirituukibwako kabi. Kyewaananga nti, “Nze tewali annenkana!” Naye kilifuuka matongo, ekifo ensolo we ziwummulira! buli muntu anaakiyitangako anaasoozanga n'afunya ebikonde, n'anyeenya emikono gye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bye birituuka ku kibuga ekyenyumirizanga olw'obuyinza bwakyo, ne kirowooza nti tekirituukibwako kabi. Kyewaananga nti: “Nze tewali annenkana!” Nga kirifuuka matongo, ekifo ebisolo we biwummulira! Buli ayitawo aneesoozanga n'afunya ebikonde, n'anyeenya emikono gye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kye kibuga eky'essanyu ekyegololanga, ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti Nze wendi so tewali mulala wabula nze: nga kifuuse matongo, ekifo ensolo we zigalamira! buli muntu akiyitako anaasoozanga n'anyeenya omukono gwe.