Zephaniah 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze mmwe abasula ku lubalama lw'ennyanja, mmwe eggwanga ly'Abakereti! Ekigambo ky'Omukama kiri ku mmwe, mmwe Kanaani ensi y'Abafilisitiini nti: “Nzija kukuzikiriza okutuusa nga tewasigadde akusulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja, eggwanga ery’Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kikwolekedde, ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti. Ndikuzikiriza so tewaliba asigalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze abo abali ku lubalama lw'ennyanja, amawanga ag'Abakeresi! Mukama akusalidde omusango ggwe Kanani, ensi ey'Abafirisuuti: alikuzikiriza n'otosigalamu muntu!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze mmwe Abakereti, abali ku lubalama lw'ennyanja! Mukama akusalidde omusango ggwe Kanaani, ensi y'Abafilistiya: alikuzikiriza n'otosigalamu muntu!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze abo abali ku lubalama lw'ennyanja, amawanga ag'Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kiboolekedde, ai Kanani, ensi ey'Abafirisuuti; ndikuzikiriza so tewaliba atuula omwo.