Zephaniah 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olubalama lulifuuka lwa baasigalawo mu nnyumba ya Yuda; eyo gye balisanga amalundiro. Akawungeezi baligalamiranga mu nnyumba z'omu Asukeloni; Omukama Katonda waabwe agenda kubalabirira; alikomyawo abasibe baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo era we banaalundiranga, ne mu nnyumba za Asukulooni mwe banaagalamiranga akawungeezi. Mukama Katonda waabwe alibalabirira, n’akomyawo obugagga bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olubalama lw'ennyanja luliba lwa kitundu ky'ennyumba ya Yuda abaliwonawo, banaalundiranga eyo era balisula mu mayumba ag'omu Asukulooni kubanga Mukama Katonda waabwe alibeera wamu nabo, era alibaddizaawo obugagga bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Buyudaaya abaliwonawo, be balibeera omwo balundirengamu, era basulenga mu mayumba ag'omu Asukelooni, kubanga Mukama Katonda waabwe alibeera wamu nabo, n'abaddizaawo ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olubalama lw'ennyanja luliba lwa kitundu ky'ennyumba ya Yuda ekifisseewo; banaalundiranga eyo: mu nnyumba za Asukulooni mwe banaagalamiranga akawungeezi; kubanga Mukama Katonda waabwe alibajjira n'akomyawo obusibe bwabwe.