Zephaniah 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nawulira okujolonga kwa Mowabu, n'okuvuma kw'Abammoni, abaavuma abantu bange ne beewaanira ku nsi yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n’okusekerera kw’Abamoni kwe bavumye abantu bange ne batiisatiisa ensi yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n'okuyomba kw'abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange, era nga beewaana nga bwe bajja okutwala ensi yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mpulidde ab'e Mowaabu n'ab'e Ammoni nga bavuma era nga bakudaalira abantu bange, era nga beewaana nga bwe bajja okunyaga ensi yaabwe. 21:28-32; 25:1-11; Amo 1:13-15
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n'okuyomba kw'abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange ne beegulumiriza ku nsalo yaabwe.