Zephaniah 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, mazima nze nga ndi mulamu,” Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, y'agamba: “Mowabu aliba nga Sodoma, n'Abammoni nga Gomorra; ensi ey'omwennyango n'entuumu z'omusenyu, ey'eddungu emirembe gyonna. Abaasigalawo mu bantu bange baliginyagulula; abaasigalira mu bantu bange balibezza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri, ddala Mowaabu aliba nga Sodomu, n’abaana ba Amoni nga Ggomola, ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo, amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo, n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, nga bwe ndi omulamu,” bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, “ Mazima Mowaabu aliba nga Sodomu, n'ab'Amoni nga Ggomola: ebifo omufungamye omwennyango, n'ebinnya omusimwa omunnyo, era amatongo agatalivaawo. Mulinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo, n'ekitundu ky'eggwanga lyange ekirisigalawo kirisikira ensi yammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nga bwe ndi omulamu, nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, ndayidde nti Mowaabu kiriba nga Sodoma, n'Abammoni baliba nga Gomora: ebifo omufuŋŋamye omwennyango, n'ebinnya omusimibwa omunnyo, era amatongo agataliggwaawo. Abantu bange abalisigalawo balinyaga ensi ezo. Bakaawonawo mu ggwanga lyange balizifuula zaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, mazima Mowaabu aliba nga Sodomu, n'abaana ba Amoni nga Ggomola, ekifo emyennyango kye gyemala, n'obunnya obw'omunnyo, n'amatongo agatalivaawo: abantu bange abaliba basigaddewo balibanyaga, n'ekitundu ky'eggwanga lyange ekifisseewo kiribasikira.