Zephaniah 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva emitala w'emigga gya Kuusi, abeegayirizi bange, abantu bange abaabuna emiwabo, balindeetera ebitone.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya, abo abansinza, abantu bange abasaasaana, balindeetera ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalinneegayirira be bantu bange abaasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalinneegayirira be bantu bange abaasaasaana. Banaavanga emitala w'emigga egy'omu Etiyopiya ne bandeetera ebirabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo abanneegayirira, ye muwala w'abange abasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya.