Zephaniah 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku olwo temuliwulira nsonyi olw'ebisobyo byonna bye mwakola, kubanga ndibaggyamu abajaganyiza mu lunkulu lwabwe. Toliddayo kwekuliza ku lusozi lwange olutukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo toliswala olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi: kubanga ndiggya wakati mu ggwe abo abeenyumiririza mu malala, toliddayo nate kwegulumiza ku lusozi lwange olutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebikolwa byo byonna bye wansobya: kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'aba malala, so naawe toliddamu kunjeemera ku lusozi lwange olutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo mmwe abantu bange temuliswazibwa olw'ebikolwa byammwe eby'okunjeemera, kubanga ndiggyawo mu mmwe abeekulumbaza era abeenyumiriza, ne mutaddamu kunjeemera ku lusozi lwange olutukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebikolwa byo byonna bye wansobya kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'amalala, so naawe toliba na kitigi nate ku lusozi lwange olutukuvu.