Zephaniah 3:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yimba, wattu muwala wa Siyoni, Yisirayeli, leekaana. Sanyuka, sagambiza n'omutima gwonna, ayi muwala wa Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ggwe Isirayiri; sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna, ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimba, ayi omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ayi Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ayi omuwala wa Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli, muyimbe musaakaanye! Ab'omu Yerusaalemu, musanyuke, mujaganye n'omutima gwammwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimba, ai omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ai Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ai omuwala wa Yerusaalemi.