Zephaniah 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama aggyeewo ekibonerezo kyo, abalabe bo abazzizzaayo emabega; Omukama, Kabaka wa Yisirayeli, ali mu makkati go, tokyaddayo kubeera na kabi k'otya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo, agobyewo omulabe wo. Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe; tokyaddayo kutya kabi konna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya kabi konna nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama aggyeewo emisango gyammwe, agobye abalabe bammwe bonna. Mukama, Kabaka wa Yisirayeli ali wamu nammwe, tewakyali kibatiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya bubi nate lwa kubiri.