Zephaniah 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo ali mu makkati go, omuzira alokola; alijaguza ku lulwo n'essanyu, alikuzza buggya n'okwagala kwe, alisanyuka ku lulwo mu nnyimba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda ali naawe, ow’amaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira n’okuyimba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wo ali naawe, ow'amaanyi yakuwa okuwangula. Alikusanyukira nnyo, aliddamu okukulaga okwagala kwe, alikwaniriza ng'ayimba nga musanyufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, Katonda wo, ali wamu naawe, ye muzira akulwanirira n'owangula. Alikusanyukira nnyo, aliddamu okukulaga okwagala kwe, alikwaniriza ng'ayimba nga musanyufu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow'amaanyi anaalokola: alikusanyukira n'essanyu, aliwummulira mu kwagala kwe, alikusanyukira ng'ayimba.