Zephaniah 3:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo ndikola ku bonna abaakulabya ennaku, ŋŋenda kuwonya omulema, ndikuŋŋaanya abaagobwa; ndibawa ettendo n'ekitiibwa mu buli nsi gye baali baswalidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abaakubonyaabonya: era ndinunula omulema, ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa; era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa mu nsi zonna gye baaswazibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera kijja kutuuka mbonereze bonna abaakubonyaabonyanga. Ndinunula abalema, ne nkuŋŋaanya abo abasaanyizibwa; era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa mu nsi zonna gye baaswazibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiseera kijja kutuuka mbonereze bonna abaakubonyaabonya. Ndiwonya abalema, ne nkuŋŋaanya abaasaasaanyizibwa. Okuswala kwabwe ndikufuula ekitiibwa, ensi zonna ne zibatendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya: era ndirokola omukazi awenyera, ne nkuŋŋaanya oyo eyagobebwa; era ndibafuula ettendo n'erinnya abakwatirwa ensonyi mu nsi zonna.