Zephaniah 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo ndibakomyawo eka; mu budde obwo ndibakuŋŋaanya. Ndibawa ettendo n'okugulumizibwa mu mawanga gonna ag'ensi, bwe ndikomyawo abasibe bammwe mu maaso gammwe,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya; mu kiseera ekyo ndibazza eka. Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obugagga bwammwe nga mulaba,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera kijja kutuuka mbakuŋŋaanye mmwe. mbakomyewo ewammwe. Ndibawa ekitiibwa n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi, bwe ndibaddizaawo ebirungi nga mulaba,” bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kijja kutuuka mbakuŋŋaanye mmwe, mbakomyewo ewammwe. Ndibafuula abamanyiddwa mu bantu bonna ku nsi, bwe ndibaddizaawo ebirungi nga mulaba.” Mukama ye ayogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo ndibayingiza, ne mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya: kubanga ndibafuula erinnya n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obusibe bwange mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama.