Zephaniah 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalanzi baakyo bantu batyo, bantu balimba; bakabona baakyo bajaajaamya Ekitukuvu, bamenya etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa era ba nkwe; bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu, era bamenya amateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannabbi baamu baggwaamu ensa, era ba nkwe. Bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, era bafuulafuula amateeka ga Katonda okufuna bye baagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi baamu baggwaamu ensa, era ba nkwe. Bakabona baakyo boonoona ebitukuvu. Bafuulafuula amateeka ga Katonda, okufuna bye baagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bannabbi baamu biwowongole, era ba nkwe: bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, bagiridde amateeka ekyejo.