Zephaniah 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso Omukama ali mu kyo mutuukirivu, takola bitali bya butuukirivu; ku makya buli lunaku awa ennamula ye, bulijjo ku maliiri talemererwa; naye omubi tafa ku kuswala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu era tasobya. Buli nkya alamula mu bwenkanya, era buli lukya talemwa; naye atali mutuukirivu taswala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama akyali mu kibuga ekyo, akola ebituufu, so takola bitali bya butuukirivu. Buli nkya, awatali kwosa, alaga nga bw'ali omwenkanya. Naye abantu ababi tebakwatibwa nsonyi, bongera kukola bibi!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama akyali mu kibuga ekyo akola ebituufu, era talikola bikyamu. Buli nkya, awatali kwosa, alaga nga bw'ali omwenkanya. Naye abantu ababi tebakwatibwa nsonyi, bongera kukola bibi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ali wakati mu kyo mutuukirivu; talikola ebitali bya butuukirivu; buli nkya ayolesa omusango gwe, talekaayo; naye atali mutuukirivu tamanyi kukwatibwa nsonyi.