Zephaniah 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: ‘Kati banantya, ne bakkiriza okukomwako. Olwo byonna bye mbagambye tebiibave ku maaso.’ Kyokka beeyongera kwagala kukola ebikolwa byabwe byonna ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nagamba eri ekibuga nti, ‘Ddala onontya, era onokkiriza okubuulirirwa.’ Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko. Naye beesunganga nnyo okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera eri ekibuga nti, ‘Mazima onoontya, onookkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo.’ Naye bo beeyongera bweyongezi okukola ebikolwa ebibi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ne ŋŋamba nti abantu bange bananzisaamu ekitiibwa, banakkiriza bye mbabuulirira, ennyumba zaabwe zireme kusaanawo olw'ebyo byonna bye nababonerezaamu. Naye beeyongera bweyongezi okukola ebikolwa ebibi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nayogera nti Mazima onontya, onokkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo: naye ne bagolokokanga mu makya ne boonoona ebikolwa byabwe byonna.