Zephaniah 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olw'ekyo, nnindirira”, Omukama y'agamba, “olunaku lwe nnaasituka okuwa obujulizi. Kubanga ntegese okukuŋŋaanya amawanga, okuleeta awamu obwakabaka, ndyoke mbamalireko obuswandi bwange, obusungu bwange obwesera, anti ensi yonna erisenkenyezebwa omuliro gw'ebbuba ly'obusungu bwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama. Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndireeta obwakabaka wamu okubayiwako obusungu bwange, n’ekiruyi kyange kyonna. Omuliro ogw’obuggya bwange gulisaanyaawo ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale munnindirire,” bw'ayogera Mukama, “okutuusa ku lunaku lwe ndiyimirira ng'omujulizi, kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, n'obwakabaka, mbamalireko essungu n'ekiruyi kyange kyonna. Ensi yonna omuliro ogw'obuggya bwange guligisaanyawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mugira munnindako okutuuka ku lunaku lwe ndisitukirako okutandika omuyiggo. Mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga n'obwakabaka, mbimalireko essungu n'ekiruyi. Omuliro gw'obuggya bwe mpulira, gulizikiriza ensi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale munnindirire, bw'ayogera Mukama, okutuusa ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyiggo: kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndeete obwakabaka okubafukako okunyiiga kwange, ekiruyi kyange kyonna; kubanga ensi zonna omuliro ogw'obuggya bwange gulizirya.