Zephaniah 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olwo nditukuza emimwa gy'amawanga, bonna balyoke bakoowoole erinnya ly'Omukama, bamuweereze ng'omuntu omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga; bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu biro ebyo ndikyusa emitima gy'abantu ab'omu mawanga, bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, balimuweereza n'omutima gumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu biro ebyo ndikyusa emitima gy'abantu ab'omu mawanga, basinzenga nze nzekka, era bampeerezenga n'omutima gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabire erinnya lya Mukama, okumuweereza n'omwoyo gumu.