bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
1 Thessalonians 2
1 Thessalonians 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Abooluganda, nammwe mumanyi bulungi ng'okujja kwaffe ewammwe tekwafa busa.
2
Mumanyi nga bwe twabonaabona e Filippi, ne batuyisa bubi; kyokka olw'obwesige bwe twalina mu Katonda waffe, twabayigiriza n'obuvumu Evangili ya Katonda wakati mu kuwakanyizibwa okungi.
3
Okubakubiriza kwe tukola gye muli tekuva mu bulimba, oba mu kugenderera bya buseegu oba eby'okubalabankanya,
4
wabula tukikola kubanga Katonda yatusiima n'atukwasa Evangili; naffe bwe twogera, tetugenderera kusanyusa bantu, wabula Katonda ageza emitima gyaffe.
5
Mumanyi bulungi nti tetubangako lwe twogera lwa kunyumiikiriza yadde okugendereramu eby'okufuna; Katonda ye mujulirwa waffe.
6
Tetwanoonyanga kutendebwa bantu, yadde mmwe mwennyini, nandibadde abalala.
7
Sso nno ke tuli abatume ba Kristu, twandisobodde okubaako kye tubasabayo. Naye ewammwe twali ba ddembe; twali ng'omuzadde agabirira abaana be.
8
Olw'okubaagala tutyo, twasiima si kubawa Vangili ya Katonda yokka, naye naffe ffennyini okubeewa, kubanga mwali mufuuse baganzi gye tuli.
9
Abooluganda, mujjukire okukola kwaffe n'okutegana; bwe twalinga tuyigiriza Evangili ya Katonda, twakolanga emisana n'ekiro tubulweko gwe tukaluubiriza.
10
Mujja kutujulira, ne Katonda yennyini atujulira, nti tweyisa mu ngeri entuukirivu, entuufu era eteriiko musango eri mmwe abakkiriza.
11
Mumanyi nti twabakubiriza kinnoomu mu mmwe nga kitaawe w'abaana bw'abakola, ne tubagumya nga tubeekubako
12
muyise mu ngeri esaanidde Katonda abayita mu bwakabaka bwe ne mu kitiibwa kye.
13
Era twebaza Katonda obutasalako, kubanga bwe mwafuna ekigambo kya Katonda nga tukibabuulidde, temwakikkiriza ng'eky'abantu, naye era nga bwe kiri mu mazima: ng'ekigambo kya Katonda, kati ekikola mu mmwe abakkiriza.
14
Abooluganda, mwafaananira ddala Ekleziya za Katonda mu Kristu Yezu ez'omu Buyudaaya; anti nammwe bannansi bannammwe baababonyaabonya mu ngeri ye emu nga bali Abayudaaya bwe baabakola,
15
abo abatta Omukama Yezu n'abalanzi, naffe abaatugobaganya; Katonda tebamusanyusa, bawakanya n'abantu bonna,
16
kubanga tebatuganya kuyigiriza ab'amawanga balyoke balokoke; bwe batyo bulijjo ekipimo ky'ebibi byabwe ne bakireegera ddala okutuusa gye kikoma. Naye kyaddaaki kati obusungu bw'Omukama bubajjidde.
17
Abooluganda, akabanga ako akatono ke twayawukana, - mu mubiri naye si mu mutima – twayagala ekisukkiridde n'okwegomba kungi okubalabirako ddala maaso ku maaso.
18
Kubanga twayagala okujjako ewammwe, - nze nzennyini Pawulo nakigezaako emirundi egiwerako, - naye Sitaani n'atuziyiza.
19
Okuggyako mmwe, tulinayo ssuubi ki eddala oba essanyu, oba engule gye tulyetenderamu mu maaso ga Mukama Yezu Kristu lw'alijja?
20
Mmwe kitiibwa kyaffe, mmwe ssanyu lyaffe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5