bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Thessalonians 3
2 Thessalonians 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Ekisembayo, abooluganda, mutusabire, ekigambo ky'Omukama kitolontoke, kifune ekitiibwa nga bwe kyakola eyo,
2
naffe tuwonyezebwe abantu ababi abagwagwa; anti okukkiriza tekuli mu bonna.
3
Katonda ye mwesigwa; ajja kubanyweza abawonye akabi.
4
Tuli bakakafu ku mmwe mu Mukama nti mukola era mujja kukolanga bye twabalagira.
5
Omukama alambike emitima gyammwe mwagale Katonda, mulinde Kristu n'obugumiikiriza.
6
Abooluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu, tubakuutira okweggya ku buli waaluganda adda mu kulendera, atagoberera mpisa ze mwatuyigirako.
7
Mumanyi mmwe mwennyini bwe muteekwa okulabira ku ffe; ffe bwe twali eyo ewammwe, tetwalenderanga bulendezi;
8
tewali we twalyanga mmere ku bwereere; wabula twakolanga ne tutegana ekiro n'emisana tuleme kubaako gwe tukaluubiriza.
9
Si kubanga twali tetusaanidde mpeera, naye twayagala kubawa kyakulabirako nammwe mukole nga ffe.
10
Ndaba ne bwe twali eyo ewammwe, ekyo kye twabakuutira, nti oba oli tayagala kukola, n'okulya aleme kulya.
11
Anti tuwulira mbu abamu mu mmwe balendera bulendezi, basobeza abalala, tebalina kye bakola.
12
Tulagira ab'engeri eyo mu Mukama Yezu Kristu era tubakubiriza bagende nga bakola mu kasirise, beefunire bo bennyini kye banaalya.
13
Abooluganda, temukoowanga kukola bulungi.
14
Oba waliwo atawulira kigambo kye tubawandiikidde mu bbaluwa eno, oyo mumulambe, mumwesambe, alyoke aswale.
15
Naye temumuyisa ng'omulabe, wabula mumukomeko ng'owooluganda.
16
Omukama oyo kiwamirembe, abawe emirembe ennaku zonna ne mu buli ngeri. Omukama abeere nammwe mwenna.
17
Okulamusa kuno nzennyini Pawulo nkuwandiise n'omukono gwange; ke kabonero ku buli bbaluwa yange; bwe ntyo bwe mpandiika.
18
Eneema ya Mukama waffe Yezu Kristu ebeere nammwe mwenna.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3