bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
2 John 1
2 John 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
1
Nze Omukadde, mpandiikira Omukyala Omulonde wa Katonda, era mpandiikira n'abaana be, be njagala mu mazima; sso si nze nzekka, naye n'abo bonna abamanyi amazima babaagala,
2
olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe.
3
Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe oyo, batukwatirwenga ekisa, batusaasirenga, era batuwenga emirembe mu mazima ne mu kwagala.
4
Nasanyuka nnyo kubanga nasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga Kitaffe bwe yatulagira.
5
Era kaakano, nkwegayirira, Nnyabo, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya, wabula ekyo kye twalina okuviira ddala olubereberye, nti twagalanenga.
6
Okwagala kitegeeza kugobereranga biragiro bya Katonda. Ekiragiro ekyo, nga bwe mwakiwulira okuviira ddala olubereberye, kye kino nti mwagalanenga bulijjo.
7
Abalimbalimba bangi abaasaasaana mu nsi. B'ebo abatakkiriza nti Yesu Kristo yajja ng'alina omubiri. Omuntu ali ng'abo, mulimba, era mulabe wa Kristo.
8
Mwekuume, muleme kufiirwa kye mwateganira, wabula mufune empeera yammwe enzijuvu.
9
Buli muntu asukka ku ebyo Kristo by'ayigiriza, era atabinywererako, talina Katonda. Oyo abinywererako, alina Kitaffe ne Mwana.
10
Bwe wabangawo ajja gye muli nga tazze n'ebyo Kristo by'ayigiriza, temumwanirizanga mu maka gammwe, era temumulamusanga.
11
Amulamusa, assa kimu naye mu bikolwa bye ebibi.
12
Newaakubadde nnina bingi eby'okubawandiikira, naye ssaagala kubiteeka ku lupapula ne bwino, wabula nsuubira okujja gye muli, twogeranye akamwa n'akamwa, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
13
Abaana ba muganda wo, omulonde wa Katonda, bakulamusizza.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1