bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
3 John 1
3 John 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
1
Nze Omukadde mpandiikira Gaayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2
Omwagalwa, nsaba Katonda obeere bulungi mu byonna, era obeere mulamu mu mubiri, nga bw'oli mu mwoyo.
3
Nasanyuka nnyo abooluganda bwe bajja ne boogera nti onyweredde ku mazima, era nti g'otambuliramu.
4
Tewali kinsanyusa ng'okuwulira nti abaana bange batambulira mu mazima.
5
Omwagalwa, oli mwesigwa mu byonna by'okolera abooluganda, ne bwe baba nga bagenyi bugenyi.
6
Abo baategeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ku kwagala kwo. Onooba okoze bulungi okubakulembera ne batambula nga basaanidde Katonda,
7
kubanga beesowolayo olwa Kristo, ne bagaana okuweebwa ekintu n'ekimu okuva mu batakkiriza.
8
N'olwekyo tusaanidde okuyamba abantu ng'abo, tulyoke twetabe mu mulimu ogw'okubunyisa amazima.
9
Nawandiikira ekibiina ky'abakkiriza Kristo, naye Diyotireefe olw'okululunkanira okuba omukulu waabwe, takkiriza bye ŋŋamba.
10
Bwe ndijja kyendiva mmuvunaana olw'ebikolwa bye by'akola, ng'atwogerako ebigambo ebibi. Era ebyo tebimumala, wabula abooluganda ye yennyini tabaaniriza; ate n'abo abaagala okubaaniriza abaziyiza, n'abagoba ne mu kibiina ky'abakkiriza Kristo.
11
Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula gobereranga ekirungi. Akola ekirungi, oyo aba wa Katonda. Akola ekibi, oyo aba talabanga Katonda.
12
Demetiriyo bonna bamwogerako bulungi, era kye boogera kya mazima. Era naffe tumwogerako bulungi, ate omanyi nga ffe kye twogera kiba kya mazima.
13
Mbadde na bingi eby'okukuwandiikira, naye ssaagala kukuwandiikira na kafumu na bwino.
14
Nsuubira okukulaba amangu, olwo tulyogeranya akamwa n'akamwa.
15
Emirembe gibe naawe. Mikwano gyo bakulamusizza. Lamusa buli omu ku mikwano gyaffe.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1