bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Haggai 1
Haggai 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 2 →
1
Mu mwaka ogwokubiri, nga Dariyo ye kabaka wa Perusiya, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'omukaaga, Mukama Nnannyinimagye n'ayogerera mu Haggayi omulanzi. Bye yayogera byali bya kutwalira Zerubabbeeli, mutabani wa Seyalutiyeli, era omufuzi wa Buyudaaya, ne Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki.
2
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Abantu bano bagamba nti ekiseera tekinnatuuka okuzimba obuggya Essinzizo lya Mukama.”
3
Mukama kyeyava ayogerera mu mulanzi Haggayi ng'agamba nti:
4
“Lwaki mmwe musula mu mayumba agazimbiddwa obulungi, Essinzizo lyange nga lirekeddwa awo lityo?
5
Kale kaakano mulabe ebibatuuseeko.
6
Mwasiga bingi, naye mwakungula bitono. Mulya, naye temukkuta. Munywa, naye byemunywa tebibamala nnyonta. Mwambala, naye temubuguma. Empeera omukozi gy'afuna, emuyita mu myagaanya gya ngalo.
7
Temuyinza kulaba ekibatuusizza ku ebyo?
8
Mwambuke ku lusozi, muleete emiti, muzimbe buggya Essinzizo, ndyoke nsanyuke, era mpeebwe ekitiibwa ekinsaanira.
9
“Mwasuubira kukungula bingi, naye ne biba bitono. Bwe mwabireeta eka, ne mbyonoona. Nakola bwe ntyo, kubanga Essinzizo lyange lirekeddwa awo lityo, nga buli omu ku mmwe yeemalidde ku nnyumba ye.
10
Enkuba kyevudde erema okutonnya, n'ettaka ne litabaza bibala.
11
Ndeese ekyeya ku nsi: ku nsozi ne ku nnimiro z'eŋŋaano, n'ez'emizabbibu, n'ez'emizayiti, ne ku birime byonna, ne ku bantu ne ku nsolo, ne ku byonna bye mukola.”
12
Awo Zerubabbeeli mutabani wa Seyalutiyeli, ne Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, n'abantu bonna abaakomawo, ne bakola nga Mukama Katonda waabwe bwe yabalagira. Baatya ne bagondera obubaka bwa Haggayi omulanzi, Mukama gwe yatuma.
13
Awo Haggayi n'atuusa ku bantu obubaka bwa Mukama nti: “Mukama agamba nti: ‘Ndi wamu nammwe.’ ”
14
Awo Mukama Nnannyinimagye n'ateeka mu Zerubabbeeli omufuzi wa Buyudaaya, era mutabani wa Seyalutiyeli, mu Yoswa Ssaabakabona, mutabani wa Yehozadaaki, ne mu bantu bonna abaakomawo, omwoyo ogw'okukola ku Ssinzizo. Ne bajja ne bakola ku Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye, Katonda waabwe,
15
ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'omukaaga, mu mwaka ogwokubiri, nga Dariyo ye kabaka.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 2 →
All chapters:
1
2