bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Obadiah 1
Obadiah 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
1
Kuno kwe kulabikirwa kwa Obadiya. Mukama atumye omubaka we eri amawanga, era tuwulidde obubaka bwe nti: “Musituke, tulumbe Edomu, tumulwanyise!” Amo 1:11-12; Mal 1:2-5
2
Mukama agamba Edomu nti: “Ndikufuula eggwanga etto, erinyoomebwa ennyo.
3
Okwekulumbaza kwo kukuwubisizza. Wazimba mu lwazi olugumu, osula mu nsozi engulumivu, era weebuuza nti: ‘Alimpanulayo ye ani?’
4
Wadde weewanika waggulu ng'empungu, ekisu kyo ne kiba ng'ekiri mu mmunyeenye, era ndikuwanulayo ggwe!
5
“Ababbi n'abanyazi bwe bajja ekiro, banditutteko bye baagala. N'abanoga emizabbibu, bandireseeko egimu. Naye ggwe abalabe bo bakusaanyirizzaawo ddala.
6
Ebya bazzukulu ba Esawu nga bikwekuddwa! Ebyobugagga byabwe nga binyagiddwa!
7
Abo abaakolagananga nammwe, babawubisizza mmwe, ne babagoba mu nsi yammwe. Be mwali nabo emirembe, kaakano babawangudde mmwe. N'abo be mwalyanga nabo, babateze mmwe omutego. Baboogerako mmwe nti: ‘Nga tebalina magezi!’
8
“Ku lunaku lwe ndibonereza Edomu, ndizikiriza ab'amagezi baamu, okutegeera ne kuggwaawo ku lusozi lwa Esawu.
9
Abazira b'omu Temani balikwatibwa entiisa ku lusozi lwa Esawu, buli muntu alittibwa.”
10
“Olw'okukambuwalira baganda bammwe bazzukulu ba Yakobo, mulizikirizibwa ne muswazibwa ennaku zonna.
11
Ku lunaku abalabe lwe baamenya enzigi zaabwe, mwayimirira awo ku mabbali. Nammwe mwali babi ng'abagwira abo, abaanyaga ebintu mu Yerusaalemu ne babigabana.
12
Mwali temusaanidde kusanyukira lunaku baganda bammwe ab'omu Buyudaaya lwe baatuukibwako akabi, era lwe baazikirira. Mwali temusaanidde kubasekerera nga bali mu buyinike.
13
Mwali temusaanidde kuyingira mu kibuga kya bantu bange, okusanyuka nga babonaabona, n'okunyaga ebintu byabwe ku lunaku lwe baagwa mu kabi.
14
Mwali temusaanidde kuyimirira mu masaŋŋanzira okukwata abo abadduka, n'okubawaayo eri abalabe ku lunaku lwe baagwibwako akabi.”
15
“Olunaku lunaatera okutuuka, nze Mukama lwe ndisalirako amawanga gonna omusango. Ggwe Edomu, kye wakola, naawe kye balikukola. Bye wakola birikuddira.
16
Abantu bange baanywera ku lusozi lwange olutukuvu ekikopo ekikaawa eky'okubonaabona. Naye amawanga gonna ageetooloddewo, galinywa ekikopo eky'okubonaabona ekikaawa okusingawo. Galikinywa kyonna, ne gasaanirawo ddala.”
17
“Naye ku Lusozi Siyooni abamu baliwonawo, era luliba lutukuvu. N'ab'ennyumba ya Yakobo balyeddiza ensi yaabwe.
18
Ab'ennyumba ya Yakobo ne Yosefu baliba ng'omuliro: balyokya ab'ennyumba ya Esawu ng'omuliro bwe gwokya ekisambu. Tewaliba n'omu ow'ennyumba ya Esawu alisigalawo nga mulamu. Nze Mukama, nze njogedde.
19
Ensi ya Edomu erifuuka y'abo ab'omu bukiikaddyo. N'ensi y'Abafilistiya eriba y'abo ab'omu bugwanjuba. Abayisirayeli balyefuga ensi ya Efurayimu n'ey'e Samariya. Era Gileyaadi eriba ya ba Benyamiini.
20
Ab'eggye ly'Abayisirayeli abaawaŋŋangukira mu Kanaani, balidda ne bawangula Fenikiya, okutuukira ddala e Zalefaati. N'eggye ly'abo abaava mu Yerusaalemu ne bawaŋŋangukira mu Sefaraadi, baliwamba ebibuga eby'omu bukiikaddyo obwa Buyudaaya.
21
Abawanguzi ab'omu Yerusaalemu be balifuga Edomu, era Mukama ye aliba Kabaka.”
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1
Recommended Reading
Commentary
Obadiah Commentaries
→
Devotional
Obadiah Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→