bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Philemon 1
Philemon 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
1
Nze Pawulo eyasibibwa olwa Kristo Yesu, era ne Timoteewo muganda waffe, tuwandiikira ggwe Filemooni omwagalwa, era mukozi munnaffe,
2
ne Affiya mwannyinaffe, ne Arukipo muserikale munnaffe, n'ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekikuŋŋaanira mu nnyumba yo.
3
Katonda Kitaffe, ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
4
Bulijjo nkusabira bwe mba nga nsinza Katonda wange, ne mmwebaza,
5
kubanga bambuulira nga bw'okkiriza Mukama waffe Yesu, era nga bw'oyagala abantu ba Katonda bonna.
6
Era nsaba Katonda nti okussa ekimu n'abalala mu kukkiriza kwo, kukusobozese okutegeerera ddala ebirungi byonna bye tufunira mu Kristo.
7
Owooluganda, okwagala kwo kunsanyusa nnyo ne njaguza, kubanga emitima gy'abantu ba Katonda wagizzaamu amaanyi.
8
Kale newaakubadde nga ku lwange nandisobodde okukulagira ky'osaanidde okukola,
9
naye okwagala kumpalirizza okukwegayirira obwegayirizi, newaakubadde nga ndi Pawulo, omubaka wa Kristo era kaakano omusibe we.
10
Nkwegayirira olw'omwana wange Onesimo, gwe nzaalidde mu busibe bwange.
11
Edda yali takugasa, naye kaakano ffembi, ggwe nange, atugasa.
12
Mmukuweerezza, ye gwe mutima gwange.
13
Nandyagadde mbeere naye wano, annyambe mu kifo kyo, mu busibe bwange olw'Amawulire Amalungi.
14
Naye saagadde kukola kintu na kimu nga tokkirizza. Nandyagadde ekirungi ky'okola okikole nga towaliriziddwa, wabula nga weeyagalidde.
15
Kiyinzika nti Onesimo yakwawukanako akaseera akatono, olyoke omweddize, abeerenga naawe bulijjo,
16
kaakano nga takyali muddu buddu, wabula nga wa muwendo okusinga omuddu, kubanga waaluganda omwagalwa, naddala eri nze. Ate eri ggwe kisingawo, kubanga muganda wo mu mubiri, ate era muganda wo mu Mukama waffe.
17
Kale oba nga ndi munno, yaniriza Onesimo nga bwe wandiyanirizza nze.
18
Oba ng'aliko kye yakusobya, oba oliko ky'omubanja, ebyo bisse ku nze.
19
Nze Pawulo mpandiise n'omukono gwange gwennyini, nti nze ndisasula, newaakubadde nga naawe wennyini, obulamu bwo nze mbuyimirizzaawo.
20
Kale owooluganda, njagala nkufunemu omugaso mu Mukama, omutima gwange oguzzeemu amaanyi mu Kristo.
21
Olw'obuwulize bwo, mpandiise nga neesiga nti ojja kukola kye ŋŋamba.
22
Era ekirala, ntegekera aw'okusula, kubanga nsuubira nti olw'okusaba kwammwe, ndibaddizibwa.
23
Epafura, musibe munnange olwa Kristo Yesu, akulamusizza.
24
Era Mariko ne Arisitaruuko ne Dema era ne Lukka bakozi bannange, nabo bakulamusizza. 14; 2 Tim 4:10,11
25
Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1