bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Psalms 119
Psalms 119
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 118
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 67
Chapter 68
Chapter 69
Chapter 70
Chapter 71
Chapter 72
Chapter 73
Chapter 74
Chapter 75
Chapter 76
Chapter 77
Chapter 78
Chapter 79
Chapter 80
Chapter 81
Chapter 82
Chapter 83
Chapter 84
Chapter 85
Chapter 86
Chapter 87
Chapter 88
Chapter 89
Chapter 90
Chapter 91
Chapter 92
Chapter 93
Chapter 94
Chapter 95
Chapter 96
Chapter 97
Chapter 98
Chapter 99
Chapter 100
Chapter 101
Chapter 102
Chapter 103
Chapter 104
Chapter 105
Chapter 106
Chapter 107
Chapter 108
Chapter 109
Chapter 110
Chapter 111
Chapter 112
Chapter 113
Chapter 114
Chapter 115
Chapter 116
Chapter 117
Chapter 118
Chapter 119
Chapter 120
Chapter 121
Chapter 122
Chapter 123
Chapter 124
Chapter 125
Chapter 126
Chapter 127
Chapter 128
Chapter 129
Chapter 130
Chapter 131
Chapter 132
Chapter 133
Chapter 134
Chapter 135
Chapter 136
Chapter 137
Chapter 138
Chapter 139
Chapter 140
Chapter 141
Chapter 142
Chapter 143
Chapter 144
Chapter 145
Chapter 146
Chapter 147
Chapter 148
Chapter 149
Chapter 150
Chapter 120 →
1
Ba mukisa abataliiko kamogo, abakolera ku mateeka ga Mukama.
2
Ba mukisa abakuuma bye yalagira, abajja gy'ali n'omutima gwabwe gwonna,
3
era abatakola bibi wabula abatambulira mu makubo g'abalaga.
4
Ayi Mukama, watukuutira ebiragiro byo, tubituusenga n'obwesigwa.
5
Singa nno nnyweredde mu kukwata ebiragiro byo!
6
Singa nzisa omwoyo ku byonna bye walagira, sandikwatiddwanga nsonyi.
7
Nnaakutenderezanga n'omutima omulongoofu, nga njize ennamula yo ey'obwenkanya.
8
Nnaakwatanga amateeka go, nkwegayiridde tonjabuliranga.
9
Kale omuvubuka anaakuumanga atya empisa ze? Nga yeegendereza, n'akolera ku biragiro byo.
10
Nfuba okukuweereza n'omutima gwange gwonna, mponya okujeemera bye walagira.
11
Ebigambo byo mbikuuma mu mutima gwange, nneme okwonoona mu maaso go.
12
Otenderezebwe, ayi Mukama, onjigirize amateeka go.
13
Njogera ne mmanyisa bye watukuutira byonna.
14
Nsanyukira okugoberera amateeka go, okusinga okufuna ebyobugagga byonna.
15
Njagala okwekkaanya ebiragiro byo, n'okulowoolereza ku by'okuutira.
16
Nsanyukira amateeka go, sseerabirenga bigambo byo.
17
Onkwatirwe ekisa nze omuweereza wo, mbeere mulamu, ŋŋonderenga ebiragiro byo.
18
Zibula amaaso gange ndabe ebyewuunyisa ebiri mu mateeka go.
19
Ku nsi ndi muyise buyise, tonkisa bye walagira.
20
Omwoyo gwange gwegomba nnyo okumanya ennamula yo ennaku zonna.
21
Onenya abeekulumbaza, abajeemera bye walagira bakolimiddwa.
22
Omponye okuvumibwa n'okunyoomebwa kubanga nkuumye bye wakuutira.
23
Abafuzi batuula ne banjogerako obubi, naye nze omuweereza wo, ndowoolereza ku mateeka go.
24
Era bye wakuutira bye nsanyukira, era bye nneebuuzaako.
25
Nze agalamidde mu nfuufu, onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
26
Nayatula byonna bye nakola, n'onziramu. Onjigirize amateeka go.
27
Ggwe nnyamba okutegeera amateeka go, ndyoke ndowoolerezenga ku by'okola ebyamagero.
28
Nfa obuyinike, ggwe nzizaamu endasi nga bwe wasuubiza.
29
Mponya okugoberera ekikyamu, naye olw'ekisa kyo, onjigirize amateeka go.
30
Nnonzeewo okubeera omuwulize, ntadde omwoyo ku by'okuutira.
31
Nkolera ku bye walagira, ayi Mukama, tondeka kuswala.
32
Nnaatuukirizanga by'olagira, ng'onnyambye okubitegeera.
33
Ayi Mukama onjigirize amateeka go nga bwe gagenda, nnaagakwatanga bulijjo.
34
Mpa amagezi nkuumenga amateeka go, ngakwatenga n'omutima gwange gwonna.
35
Nnyamba okukwatanga bye walagira, kubanga mu byo mwe nsanyukira.
36
Mpa okwegomba okukwatanga ebiragiro byo, sso si kwettanira bya bugagga.
37
Mponya okumalira omwoyo ku bitalina mugaso, naye ebigambo byo bimpe obulamu.
38
Nyweza kye wasuubiza omuweereza wo, kye wasuubiza abakussaamu ekitiibwa.
39
Mponya okuvumibwa kwe ntya, kubanga ennamula yo nnungi.
40
Laba, njagala nnyo ebiragiro byo, ggwe omwenkanya, mpa obulamu.
41
Ayi Mukama, ndaga ekisa kyo, era ondokole nga bwe wasuubiza,
42
ndyoke mbeeko ne kye nziramu abanvuma, kubanga neesiga ebigambo byo.
43
Nsobozesa okwogeranga amazima bulijjo, kubanga nnina essuubi mu nnamula yo.
44
Nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna, emirembe n'emirembe.
45
Era nnaabeeranga mu ddembe, kubanga nfuba okukwata ebiragiro byo.
46
Nnaategeezanga bakabaka amateeka go, nga sikwatibwa nsonyi.
47
Nsanyuka okutuukiriza bye walagira, era mbyagala nnyo.
48
Ebiragiro byo mbissaamu ekitiibwa era mbyagala. Nnaalowoolerezanga ku mateeka go.
49
Jjukira kye wasuubiza nze omuweereza wo, ekyandeetera essuubi.
50
Ne bwe nabonaabona nasanyuka, kubanga kye wasuubiza kyanzizaamu amaanyi.
51
Abeekulumbaza bansekerera nnyo, naye ssaava ku mateeka go.
52
Bwe nzijukira bye wakuutira edda, nsanyuka, ayi Mukama,
53
Bwe ndaba ababi nga bava ku mateeka go, nkwatibwa nnyo obusungu.
54
Mu bulamu bwange obuyita obuyisi, bye walagira bye nnyimbako ennyimba.
55
Nkujjukira ekiro ayi Mukama, ne ŋŋondera amateeka go.
56
Okukwata ebiragiro byo kwe nfudde essanyu lyange.
57
Ayi Mukama, ggwe wange, nsuubiza okukwatanga ebiragiro byo.
58
Nkwegayirira n'omutima gwange gwonna, onkwatirwe ekisa nga bwe wasuubiza.
59
Bwe ntunuulira amayisa gange, nkyuka ne ngoberera bye wakuutira.
60
Sseekunya, nnyanguwa okukwata bye walagira.
61
Ababi ne bwe bantega emiguwa, sseerabira mateeka go.
62
Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza olw'amateeka go amatuufu.
63
Ndi mukwano gw'abo bonna abakussaamu ekitiibwa era ow'abo abakwata ebiragiro byo.
64
Ayi Mukama, ekisa kyo kijjudde ensi, onjigirize bye walagira.
65
Otuukiriza kye wasuubiza, ayi Mukama, ng'onkolera ebirungi nze omuweereza wo.
66
Ompe amagezi n'okutegeera, kubanga neesiga ebiragiro byo.
67
Nga sinnabonaabona nakuvangako, naye kaakano mpulira by'olagira.
68
Oli mulungi, okola ebirungi, onjigirize amateeka go.
69
Abeekulumbaza banjogerako eby'obulimba, naye nze nnywerera ku by'oyigiriza.
70
Emitima gyabwe gyonoonese, naye nze nsanyukira amateeka go.
71
Okubonaabona kwangasa, ne nsobola okwetegereza ebiragiro byo.
72
Amateeka go gansingira zaabu ne ffeeza enkumi n'enkumi.
73
Ggwe wantonda era ggwe onkuuma, mpa amagezi njige ebiragiro byo.
74
Abakussaamu ekitiibwa bwe banandabanga, banaasanyukanga, kubanga neesiga kye wasuubiza.
75
Mmanyi ayi Mukama, nti olamula mu mazima, era nga wambonereza kubanga oli mwesigwa.
76
Nkwegayiridde, ggwe ow'ekisa onsanyuse, nze omuweereza wo, nga bwe wasuubiza.
77
Nkwatirwa ekisa, ompe obulamu, kubanga nsanyukira amateeka go.
78
Abeekulumbaza abampaayiriza baswale, naye nze nnaalowoolerezanga ku amateeka go.
79
Abakussaamu ekitiibwa bajje gye ndi, bamanye bye walagira.
80
Ntuukirize bulungi bye walagira, nnemenga okuswala.
81
Ayi Mukama, nkooye nga nkulindirira okundokola, naye neesiga kye wayogera.
82
Nkooye okutega amaaso nga nnindirira okulaba kye wasuubiza, nga bwe nneebuuza nti: “Olinsanyusa ddi?”
83
Newaakubadde nfuuse ng'eddiba eritakyagasa, naye seerabira bye wasuubiza.
84
Nze omuweereza wo ndigumiikiriza kutuusa ddi? Abanjigganya olibasalira ddi omusango?
85
Abeekulumbaza abatagoberera mateeka go bansimidde obunnya mbugwemu.
86
Byonna bye walagira byesigibwa. Banjigganya awatali nsonga, ggwe onnyamba.
87
Kaabula kata bansaanyeewo ku nsi, naye saava ku biragiro byo.
88
Olw'ekisa kyo, wonya obulamu bwange, ndyoke nkwatenga bye walagira.
89
Ayi Mukama, ky'oyogera kibeerera, ne mu ggulu kiba kinywevu.
90
Obwesigwa bwo bwa mirembe gyonna, wanyweza ensi obutasagaasagana.
91
Ebintu byonna bikyaliwo nga bwe walagira, kubanga byonna ggwe biweereza.
92
Singa amateeka go si ge gansanyusa, nandibadde nfudde bwe nabonaabona.
93
Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna, kubanga by'ompeereddemu obulamu.
94
Nze ndi wuwo, kale ggwe ndokola, kubanga nfuba okutuukiriza by'olagira.
95
Ababi bannindiridde okunsaanyaawo, naye nze nnaalowoolerezanga ku biragiro byo.
96
Ndabye ng'ebintu byonna birina we bikoma, naye ebiragiro byo tebirina kkomo.
97
Amateeka go ngaagala nnyo, ngeebuulirirako okuzibya obudde.
98
Ekiragiro kyo kiba nange bulijjo, ne kinfuula mugezi okusinga abalabe bange.
99
Ntegeera okusinga abayigiriza bange bonna, kubanga ndowoolereza ku bye walagira.
100
Ndi mugezi okusinga abakadde, kubanga nkwata ebiragiro byo.
101
Neewala empisa embi zonna, ndyoke nkwatenga ky'ogamba.
102
Siva ku biragiro byo, kubanga ggwe obinjigiriza.
103
Ebigambo byo bimpoomera okusinga omubisi gw'enjuki.
104
By'oyigiriza binfuula mugezi ne nkyawa empisa zonna ez'obulimba.
105
Ekigambo kyo ye ttaala emmulisiza ekkubo nga ntambula.
106
Nkakasizza nga ndayira okukwatanga amateeka go, agajjudde obwenkanya.
107
Mbonaabona nnyo, ayi Mukama, onkuume nga ndi mulamu nga bwe wasuubiza.
108
Ayi Mukama, siima bye nkuwa okukwebaza, era onjigirize by'olagira.
109
Obulamu bwange buli mu kabi buli kaseera, naye seerabira mateeka go.
110
Ababi banteze omutego, naye siva ku biragiro byo.
111
Ebyo bye walagira gwe mugabo gwange ogw'olubeerera, era bye bisanyusa omutima gwange.
112
Mmaliridde okutuukirizanga ebiragiro byo. Okutuusa lwe ndifa.
113
Nkyawa abateesigwa, naye njagala amateeka go.
114
Ggwe onkuuma era ggwe ontaasa, neesiga bye wasuubiza.
115
Muve we ndi mmwe aboonoonyi, nze nkwata ebyo Katonda bye yalagira.
116
Ompanirire nga bwe wasuubiza, mbe mulamu, tondeka kuswala nga nkwesize.
117
Ompanirire mbe mirembe, nkwatenga amateeka go ennaku zonna.
118
Onyooma bonna abava ku biragiro byo, ddala entegeka zaabwe ez'obulimba ziba za bwereere.
119
Ababi bonna obayisa ng'ebisasiro, kyenva njagala ebiragiro byo.
120
Nzenna nkankana olw'okukutya, era ntya okulamula kwo.
121
Nkoze ebituufu era ebirungi, tondeka mu balabe bange.
122
Suubiza okuyamba omuweereza wo, abeekulumbaza tobaleka kunnyigiriza.
123
Nkooye okukanula amaaso nga nnindirira ondokole nga bwe wasuubiza, ggwe omwenkanya.
124
Ondage ekisa kyo, era onjigirize by'olagira.
125
Ndi muweereza wo, ompe okutegeera, ndyoke mmanye by'oyigiriza.
126
Ayi Mukama, kye kiseera obeeko ky'okola, kubanga bamenya amateeka go.
127
Njagala ebiragiro byo okusinga zaabu, wadde zaabu omulungi ennyo.
128
Kyennaavanga ngoberera byonna by'olagira, era ne nkyawa eby'obulimba byonna.
129
Bye walagira byewuunyisa, kyenva mbikuuma mu mutima gwange.
130
Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa, biwa ekitangaala, bigeziwaza abatalina magezi.
131
Njasamya akamwa kange ne mpeevuuma, olw'okuyaayaanira bye walagira.
132
Kyukira gye ndi onkwatirwe ekisa, nga bw'okikwatirwa abakwagala.
133
Onnuŋŋamyenga nga bwe wasuubiza, waleme kubaawo kibi kinfuga.
134
Omponye abambonyaabonya, nsobole okukwata ebiragiro byo.
135
Ontunuulize ekisa nze omuddu wo, era onjigirize amateeka go.
136
Amaziga gange gakulukuta ng'omugga, kubanga abantu tebakwata mateeka go.
137
Ayi Mukama, oli mutuukirivu, era amateeka go ga bwenkanya.
138
Ebiragiro bye wawa bituufu, era byesigirwa ddala.
139
Obusungu bumbugujja kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.
140
Kye wasuubiza kikakafu, nze omuweereza wo kyenva nkyagala.
141
Nze siriiko bwe ndi era nnyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142
Obutuukirivu bwo bwa mirembe gyonna, era amateeka go matuufu bulijjo.
143
Nzijiddwa emitawaana n'obuyinike, naye bye walagira binsanyusa.
144
Bye walagira bituufu emirembe gyonna, ompe okutegeera mbe mulamu.
145
Ayi Mukama, nkoowoola n'omutima gwange gwonna, onziremu, nnaakwatanga amateeka go.
146
Nkukoowoola ondokole, ndyoke ntuukirizenga bye walagira.
147
Nkeera nnyo ng'emmambya tennasala, ne nkusaba onnyambe. Neesiga kye wasuubiza.
148
Ekiro kyonna nsula ntunula, nga ndowoolereza ku bye walagira.
149
Olw'ekisa kyo ayi Mukama, owulire kye ŋŋamba nti kuuma obulamu bwange ggwe omwenkanya.
150
Ababi abangigganya banfumbiikirizza, be bantu abatakwata mateeka go.
151
Naye ggwe ondi kumpi, ayi Mukama, ebiragiro byo byonna bituufu.
152
Okuva edda n'edda nayiga bye walagira, ne mmanya nti wabiteekawo nga bya mirembe gyonna.
153
Laba obuyinike bwange, omponye, kubanga seerabira mateeka go.
154
Ompolereze, onnunule, ompe obulamu nga bwe wasuubiza.
155
Ababi tebalokolebwa, kubanga tebafa ku bye walagira.
156
Ekisa kyo kingi, ayi Mukama, ompe obulamu ggwe omwenkanya.
157
Abanjigganya n'abankyawa bangi, naye nze siva ku bye walagira.
158
Ndaba ab'enkwe ne neetamwa, kubanga tebakwata biragiro byo.
159
Ayi Mukama, laba bwe njagala bye walagira. Olw'ekisa kyo, kuuma obulamu bwange.
160
Omulamwa gw'amateeka go ge mazima, byonna by'olagira bituufu era bya mirembe gyonna.
161
Ab'obuyinza banjigganya awatali nsonga, naye nze nzisaamu ebiragiro byo ekitiibwa.
162
Nsanyukira bye wasuubiza, ng'asanyukira eby'omunyago ebingi.
163
Nkyawa era ntamwa obulimba, naye njagala amateeka go.
164
Buli lunaku nkutendereza emirundi musanvu, olw'ennamula yo ey'obwenkanya.
165
Abaagala amateeka go balina emirembe mingi, tebalina kye beesittalako.
166
Ayi Mukama, nkulindirira ondokole, era ntuukiriza bye walagira.
167
Nkwata ebiragiro byo era mbyagala nnyo.
168
Ntuukiriza bye walagira ne bye wakuutira, era olaba byonna bye nkola.
169
Okukaaba kwange kutuuse gy'oli, ayi Mukama, ompe okutegeera nga bwe wasuubiza.
170
Wulira okwegayirira kwange, omponye nga bwe wasuubiza.
171
Nnaakutenderezanga bulijjo, kubanga onjigiriza amateeka go.
172
Nnaayimbanga bye walagira, kubanga ebiragiro byo bya bwenkanya.
173
Bulijjo ba nga weetegese okunnyamba, kubanga nalondawo okukwatanga ebiragiro byo.
174
Ayi Mukama, neegomba ondokole, era amateeka go ge gansanyusa.
175
Ompe obulamu, nnaakutenderezanga, era ennamula yo ennyambenga.
176
Mbutaabutana ng'endiga eyabula, onnoonye nze omuweereza wo, kubanga seerabira biragiro byo.
← Chapter 118
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 67
Chapter 68
Chapter 69
Chapter 70
Chapter 71
Chapter 72
Chapter 73
Chapter 74
Chapter 75
Chapter 76
Chapter 77
Chapter 78
Chapter 79
Chapter 80
Chapter 81
Chapter 82
Chapter 83
Chapter 84
Chapter 85
Chapter 86
Chapter 87
Chapter 88
Chapter 89
Chapter 90
Chapter 91
Chapter 92
Chapter 93
Chapter 94
Chapter 95
Chapter 96
Chapter 97
Chapter 98
Chapter 99
Chapter 100
Chapter 101
Chapter 102
Chapter 103
Chapter 104
Chapter 105
Chapter 106
Chapter 107
Chapter 108
Chapter 109
Chapter 110
Chapter 111
Chapter 112
Chapter 113
Chapter 114
Chapter 115
Chapter 116
Chapter 117
Chapter 118
Chapter 119
Chapter 120
Chapter 121
Chapter 122
Chapter 123
Chapter 124
Chapter 125
Chapter 126
Chapter 127
Chapter 128
Chapter 129
Chapter 130
Chapter 131
Chapter 132
Chapter 133
Chapter 134
Chapter 135
Chapter 136
Chapter 137
Chapter 138
Chapter 139
Chapter 140
Chapter 141
Chapter 142
Chapter 143
Chapter 144
Chapter 145
Chapter 146
Chapter 147
Chapter 148
Chapter 149
Chapter 150
Chapter 120 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66
67
68
69
70
71
72
73
74
75
76
77
78
79
80
81
82
83
84
85
86
87
88
89
90
91
92
93
94
95
96
97
98
99
100
101
102
103
104
105
106
107
108
109
110
111
112
113
114
115
116
117
118
119
120
121
122
123
124
125
126
127
128
129
130
131
132
133
134
135
136
137
138
139
140
141
142
143
144
145
146
147
148
149
150