bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 John 1
2 John 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
1
Omukadde, ya Mukyala omulonde n'abaana be, be njagala mu mazima, - si nze nzekka, naye ne bonna abamanyi amazima,
2
olw'amazima ago agabeera mu ffe, era agalibeera mu ffe emirembe gyonna.
3
Eneema, okusaasira n'emirembe bya kubeera naffe okuva ewa Katonda Kitaffe n'ewa Yezu Kristu, Omwana wa Taata, mu mazima ne mu kwagala.
4
Nasanyuka nnyo bwe nasanga ng'abamu ku baana bo batambulira mu mazima, ng'ekiragiro kye twafuna ewa Taata bwe kigamba.
5
Kale nno, Mukyala, nkwegayiridde, weewaawo sikuwandiikira kiragiro kiggya, wabula kiri kye twafuna okuviira ddala mu masooka, nti twagalanenga.
6
Kuno kwe kwagala, nti tutambulira mu biragiro bye; ekiragiro nga bwe mwakiwulira okuviira ddala mu masooka kye kino, nti mutambulirenga mu kwagala.
7
Abalimba bangi abalabise mu nsi, abantu abatakkiriza nga Yezu yajjira mu mubiri. Ow'engeri eyo ye mulimba era omulabe wa Kristu.
8
Mwegendereze, sikulwa nga mufiirwa bye mwateganira, wabula nti mufuna empeera yammwe yonna.
9
Buli yenna agenda atyo n'atanywerera ku njigiriza ya Kristu talina Katonda; anywerera ku njigiriza, oyo alina Taata ne Mwana.
10
Oli bw'ajjanga gye muli, n'atajja na njigiriza eno, temumwanirizanga mu nnyumba; temumulamusanga n'akamu,
11
Kubanga amulamusa aba yeetabye n'ebikolwa bye ebibi.
12
Mbadde na bingi eby'okubawandiikira, naye saagala kubiwandiika ku lupapula na mu bwino, wabula nsuubira nze nzennyini okubeera eyo gye muli njogere nammwe maaso ku maaso, essanyu lyaffe lituukirire.
13
Abaana ba Mwannyoko omulonde bakutumidde.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1