bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
3 John 1
3 John 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
1
Omukadde, ya Gayiyo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2
Omwagalwa, nsaba byonna bikugendere bulungi, obeere mulamu nga bw'oli obulungi mu mwoyo.
3
Nasanyuka nnyo abooluganda bwe bajja ne boogera bulungi ku ngeri gy'onyweredde ku mazima, nga bw'otambulira mu mazima.
4
Mpaawo ssanyu lye nfuna lisinga eryo ng'okuwulira ng'abaana bange batambulira mu mazima.
5
Omwagalwa, ky'okola kituufu bw'oyamba abooluganda, ate naddala abagenyi.
6
Abo boogedde bulungi ku kwagala kwo kw'olina eri Ekleziya. Bw'onoobasibirira mu lugendo lwabwe nga bwe kigwanira omulimu gwa Katonda, onooba okoze bulungi.
7
Bessa mu lugendo lwa kubeera linnya lye; mpaawo kantu ke bakkiriza kuva mu bakafiiri.
8
Naffe ab'engeri eyo tulagirwa okubaaniriza, tulyoke tubeere bakozi bannaabwe ku lw'amazima.
9
Ekleziya nina ke ngiwandiikiddeyo; naye Diyoturefe ayagala okubeera asooka mu bo, ffe tatukkiririzaamu.
10
N'olw'ekyo bwe ndijja, ndimujjukiza ebikolwa bye by'akola ng'amala gatwogerako bigambo bibi. Ekyo olw'obutamumalira, n'abooluganda tabaaniriza, ate n'aziyiza n'abo abandyagadde okubaaniriza, n'abagoba mu Ekleziya.
11
Omwagalwa, togoberera kibi, wabula ekirungi; akola obulungi, oyo aba wa Katonda; akola obubi aba tannalaba Katonda.
12
Demeturiyo ayogerwako bulungi mu bonna, ko n'amazima gamukakasa; naffe ffennyini tumwogerako bulungi, ate omanyi ng'okukakasa kwaffe kwa mazima.
13
Mbadde na bingi eby'okukuwandiikira, naye saagala kubiwandiika ku lupapula na mu bwino;
14
anti nsuubira okukulaba amangu; tulibyogerako maaso ku maaso.
15
Emirembe gibeere naawe. Banno bakutumidde. Bannaffe batulamusize buli kinnoomu.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1