bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Jude 1
Jude 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
1
Yuda, omuweereza wa Yezu Kristu era muganda wa Yakobo, y'abo abaayitibwa, abaagalwa mu Katonda Taata, era abaakuumirwa Yezu Kristu;
2
okusaasira, emirembe n'okwagala byeyongere obungi.
3
Abaagalwa, newandibadde nga nayagala nnyo okubawandiikira ku bifa ku kulokoka kwaffe ffenna kwe tugabana, naye mpaliriziddwa okubawandiikira mbakubirize okulwanirira n'obuvumu okukkiriza okwaweebwa abatuukirivu olumu nga lwe lwamala.
4
Kubanga waliwo abantu abamu abeerimbise mu mmwe mu nkukutu, abo okuva edda abaalambibwa okusingibwa omusango; abatatya Katonda, eneema ya Katonda waffe abagifuula obugwagwa, ne bagaana ne Yezu Kristu, yekka Nnyinibuyinza era Omukama.
5
Njagala okubajjukiza, newandibadde nga byonna mwabimanya, nti Omukama bwe yamala okununula eggwanga mu nsi y'e Misiri olumu n'amala, oluvannyuma bonna abatakkiriza yabazikiriza.
6
Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe, ne baleka ebifo byabwe, yabasiba mu nzikiza mu njegere ez'emirembe gyonna, ng'abakuumira okulamulibwa ku lunaku luli olukulu.
7
Mu ngeri ye emu Sodoma ne Gomorra n'ebibuga ebyali byetooloddewo, nabyo ebyessa mu bugwagwa ne mu bukaba obutali bwa butonde, bituweereddwa ng'ekyokulabirako eky'abo abali ku kibonerezo eky'omu muliro ogw'emirembe gyonna.
8
Mu ngeri ye emu, na bano abali mu birooto baweebuula emibiri gyabwe, ne banyooma obukulu, ne bavuma ab'ebitiibwa ab'omu ggulu.
9
Sso nga ne Mikayeli Ssaabamalayika, bwe yali yeezooba ne Sitaani ng'akaayana ku mubiri gwa Musa, teyaguma kumulamula mu ngeri yandimuvumye; yagamba bugambi nti: “Omukama akukomeko.”
10
Naye bo bano byonna bye batategeera bavuma bivume; naye ate ebyo bye bamanyi okusinziira mu butonde ng'ensolo ezitalina magezi bwe zibimanya, mwe bazikiririra.
11
Zibasanze! Ekkubo bakutte lya Kayini; olw'okufuna empeera, bawondedde bunnambiro ensobi ya Balaamu, ne bazikiririra mu bujeemu bwa Kora.
12
Bano bali nga mabala ku mbaga zammwe ez'okussa ekimu; bajja okulya nammwe awatali na kafansonyi, nga beefaako bokka. Bali ng'ebire omutali mazzi empewo by'ekuŋŋuusa; miti okutali bibala ku nkomerero y'omwaka, egifudde emirundi ebiri n'okusindulwa ne gisindulwa;
13
mayengo ga nnyanja agaswakidde, babimba jjovu lya nsonyi zaabwe; mmunyeenye mmomboze, abaterekeddwa okubeera mu kizikiza ekikunivu eky'emirembe gyonna.
14
Enoki ow'olulyo olwomusanvu okuva ku Adamu abo be yayogerako nti: “Omukama wuuno azze n'enkumi n'enkumi z'abatuukirivu be,
15
okujja okusalira omusango bonna, n'okuvunaana bonna abatatya Katonda olw'enneeyisa yaabwe yonna embi enkafiiri, n'olw'ebigambo byonna ebitasanyusa aboonoonyi abo ababi bye bamuvumyemu.”
16
Abantu abo batolooma, beemulugunya; bagoberera maddu gaabwe gokka, ba kamwa akoogera eby'okwewaana, abasuutasuuta abantu okubaako kye beefunira.
17
Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire ebigambo Abatume ba Mukama waffe Yezu Kristu bye baalanga,
18
bwe baabagamba nti: “Mu nnaku ez'oluvannyuma walijjayo abaduuze abagoberera amaddu gaabwe amakafiiri.”
19
Be bo abaleeta okweyawulayawulamu; ba ndowooza ya nsi, tebaliimu Mwoyo.
20
Naye mmwe, abaagalwa, mwezimbire ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ddala; mwegayirire mu Mwoyo Mutuukirivu;
21
mwekuumire mu kwagala Katonda; mulindirire ekisa kya Mukama waffe Yezu Kristu ekibatuusa mu bulamu obutaggwaawo.
22
Mubeere ba kisa eri abamu ababuusabuusa;
23
abalala mubawonye mu muliro nga mubasikayo; abandi mubakwate na kisa, naye nga mutya, nga mukyayira ddala ekyambalo ekijamawaziddwa omubiri.
24
Eri oyo asobola okubawonya okugwa, ate n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bbala era nga muli basanyufu,
25
eri Katonda yekka omulokozi waffe, mu Yezu Kristu Mukama waffe, ebeere ekitiibwa n'obukulu, n'okufuga, n'obuyinza emirembe gyonna nga teginnabaawo, na kaakano, na bulijjo. Amiina.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1