bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Obadiah 1
Obadiah 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
1
Okulabikirwa kwa Obadiya: Tufunye obubaka okuva ew'Omukama, omubaka abusindise eri amawanga nti: “Musituke, tulumbe, tumulwanyise.” Kino Omukama Katonda ky'agamba ku Edomu:
2
“Laba, nzija kukutoowaza mu mawanga, ojja kunyoomebwa nnyo.
3
Amalala g'omutima gwo gakulimbye, ggwe asula mu mpampagama z'olwazi, ekisulo kyo ekiwanike waggulu, agamba mu mutima gwe nti: ‘Ani alimpanulayo n'ankuba ku ttaka?’
4
Ne bw'otumbiira ng'empungu, n'ozimba ekisu kyo mu mmunyeenye, era ndikuwanulayo.” Omukama y'agamba.
5
“Singa ababbi baakuyingirira, oba abanyazi ekiro, nga wandisaanyiziddwawo! Tebandibbye ne bennyula? Singa abanozi b'emizabbibu bajja gy'oli, tebandirese ebirimba bitono?
6
Ezawu nga bamwayizza! Obugagga bwe obukusike nga babunyaze!
7
Banno bwe mukkaanya balikusindikiriza okutuuka ku nsalo; bagenda kukulimba bakumale amaanyi; mikwano gyo be weesiga bakuteze omutego, ate ggwe tonnakitegeera.
8
“Ku olwo,” Omukama y'agamba, “sirisaanyaawo abagezi b'omu Edomu, n'abategeevu ku lusozi lwa Ezawu?
9
Abatabaazi bo balitekemuka, wattu Temani; abantu bonna obutasigalawo n'omu balisanjagibwa ku lusozi lwa Ezawu.
10
Olw'ettemu lye wakolera muganda wo Yakobo, ensonyi kyeziriva zikubikka; olizikirizibwa emirembe gyonna.
11
“Ku luli lwe weerimba ku bbali ng'abagwira banyaga obugagga bwe, abagwira ne bayingira mu miryango gye, Yeruzaalemu ne bamukubako akalulu, wali ng'omu ku bo.
12
Tewanditunuulidde butunuulizi otyo muganda wo ku lunaku lw'obulemu bwe; tewandisanyuse lwa bantu ba Yuda ku lunaku lw'okuzikirira kwabwe; tewandyenyumirizza mu lunaku lw'obuyinike bwabwe.
13
Tewandiyingidde mu miryango gya bantu bange, ku lunaku lw'obuyinike bwe; era tewanditunudde butunuzi otyo ku lunaku lwe yali mu kacwano ku lunaku lw'obuyinike bwabwe; tewandinyaze bintu byabwe ku lunaku lw'obuyinike bwabwe.
14
Tewanditeeze mu masaŋŋanzira kutta bantu baabwe abaasigalawo; tewandiwaddeyo bakaawonawo mu bo ku lunaku lwabwe olw'obuyinike.
15
“Olunaku lw'Omukama luli kumpi ku lw'amawanga gonna. Nga bwe wakola, naawe bwe kirikukolerwa; ebikolwa byo birikuddira ku mutwe gwo.
16
Nga bwe mwanywera ku lusozi lwange olutukuvu, n'amawanga gonna bwe galinywa obutasalako. Balinywa ne bamira bugobo, ne baba ng'abatabeerangawo.
17
“Naye ku lusozi Siyoni walibeera abasumattuse; olusozi lulibeera lutukuvu, n'ennyumba ya Yakobo erifuna ebyayo.
18
Ennyumba ya Yakobo eriba muliro, n'eya Yozefu, lulimi lwa muliro, yo ennyumba ya Ezawu eriba ssubi; baligiteekera omuliro ne gugisenkenya. Mu nnyumba ya Ezawu temuliba awona.” Omukama y'ayogera.
19
Ab'omu Negevu balitwala olusozi lwa Ezawu; abantu b'omu Sefela baliwamba ensi y'Abafilisitiini, balyetwalira ensi ya Efurayimu n'ensi ya Samariya; Benyamiini alitwala Gileyaadi.
20
Eggye ly'Abayisirayeli abawaŋŋangusibwa eriri mu Kanaani lirirya ensi okutuukira ddala e Zarefati; n'abawaŋŋangusibwa b'omu Yeruzaalemu abali e Sefaradi balitwala ebibuga by'omu Negevu.
21
Abanunuzi balyambuka ku lusozi Siyoni okufuga olusozi lwa Ezawu. Obwakabaka buliba bwa Mukama.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1