bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Psalms 119
Psalms 119
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 118
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 67
Chapter 68
Chapter 69
Chapter 70
Chapter 71
Chapter 72
Chapter 73
Chapter 74
Chapter 75
Chapter 76
Chapter 77
Chapter 78
Chapter 79
Chapter 80
Chapter 81
Chapter 82
Chapter 83
Chapter 84
Chapter 85
Chapter 86
Chapter 87
Chapter 88
Chapter 89
Chapter 90
Chapter 91
Chapter 92
Chapter 93
Chapter 94
Chapter 95
Chapter 96
Chapter 97
Chapter 98
Chapter 99
Chapter 100
Chapter 101
Chapter 102
Chapter 103
Chapter 104
Chapter 105
Chapter 106
Chapter 107
Chapter 108
Chapter 109
Chapter 110
Chapter 111
Chapter 112
Chapter 113
Chapter 114
Chapter 115
Chapter 116
Chapter 117
Chapter 118
Chapter 119
Chapter 120
Chapter 121
Chapter 122
Chapter 123
Chapter 124
Chapter 125
Chapter 126
Chapter 127
Chapter 128
Chapter 129
Chapter 130
Chapter 131
Chapter 132
Chapter 133
Chapter 134
Chapter 135
Chapter 136
Chapter 137
Chapter 138
Chapter 139
Chapter 140
Chapter 141
Chapter 142
Chapter 143
Chapter 144
Chapter 145
Chapter 146
Chapter 147
Chapter 148
Chapter 149
Chapter 150
Chapter 120 →
1
Beesiimye ab'amakubo agataliiko musango, abatambulira mu tteeka ly'Omukama.
2
Beesiimye abakuuma by'ayigiriza, abamunoonya n'omutima gwonna;
3
abo abatakola bubi, abatambulira mu makubo ge.
4
Wassaawo ebiragiro byo bikuumirwe ddala.
5
Singa nno amakubo gange manywevu mu kukwata amateeka go.
6
Olwo siriswala bwe ndiba nekkaanyizza ebiragiro byo byonna.
7
Ndikugulumiza n'omutima omuluŋŋamu, bwe ndiba njize amateeka go amatuukirivu.
8
Amateeka go ndigakwata, tonjabuliranga n'akatono.
9
Omuvubuka alikuuma atya ekkubo lye nga ttukuvu? Ng'akwata ekigambo kyo.
10
Nkunoonya n'omutima gwange gwonna, tondeka kuwunjuka ku biragiro byo.
11
Ekigambo kyo nakikweka mu mutima gwange, nneme kukola kibi.
12
Ogulumizibwe, ayi Mukama; njigiriza amateeka go.
13
Mu mimwa gyange mbala amateeka gonna agava mu kamwa ko.
14
Nsanyukira mu by'ayigiriza kyenkana ng'oli bw'asanyukira mu bugagga obungi.
15
Ndyebuulirira ku biragiro byo; ndyekkaanya amakubo go.
16
Nsanyukira mu mateeka go, siryerabira kigambo kyo.
17
Nkolera bulungi nze omuweereza wo, mbeere mulamu; ndikwata ekigambo kyo.
18
Zibula amaaso gange, nekkaanye ebyewuunyisa eby'etteeka lyo.
19
Nze mu nsi ndi mugenyi, tonkweka biragiro byo.
20
Okuyaayaanira ebirangiriro byo obudde bwonna kundyamu omwoyo.
21
Wakoma ku beekuza, abo abavumirire, abawunjuka ku biragiro byo.
22
Nzigyaako okuvumibwa n'okugayibwa, kubanga ntuusa by'oyigiriza.
23
Abakungu ne bwe batuula ne banjogerako obubi, ye omuweereza wo alyebuulirira ku tteeka lyo.
24
Anti by'oyigiriza lye ssanyu lyange, byo be babuulirizi bange.
25
Omwoyo gwange gwebase mu nfuufu, nziriza obulamu ng'osinziira ku kigambo kyo.
26
Nakubuulira amakubo gange, n'ompulira, njigiriza amateeka go.
27
Mpa okutegeera ebiragiro byo kye biyigiriza, olwo ndyebuulirira ebyewuunyisa byo.
28
Omwoyo gwange guyenjebuse olw'ennaku, nzizaamu amaanyi ng'osinziira ku kigambo kyo.
29
Amakubo ag'obulimba gakuumire wala nange; ngirira ekisa olw'etteeka lyo.
30
Nalondawo ekkubo ery'amazima; nange neeroboza ennamula yo.
31
Nnyweredde ku by'oyigiriza, ayi Mukama; tondeka kuswazibwa.
32
Nzirukira mu kkubo ly'ebiragiro byo, kubanga wawa eddembe omutima gwange.
33
Njigiriza, ayi Mukama, ekkubo ly'amateeka go; nzija kulikwata okutuusa ku nkomerero.
34
Mpa okutegeera, nzija kukwata etteeka lyo, nzija kulikwata n'omutima gwange gwonna.
35
Nnambika mu kkubo ly'ebiragiro byo, kubanga mu lyo mwe muli essanyu lyange.
36
Omutima gwange guwunzikire ku by'oyigiriza, sso si eri omululu gw'okufuna.
37
Amaaso gange gaggye ku bintu ebitagasa; mpa mbeere mulamu mu kkubo lyo.
38
Omuweereza wo mukakase kye wasuubiza, alyoke akutye.
39
Nzigyiraawo ekivumo kye ntya, kubanga amateeka go malungi.
40
Nga njaayaanira ebiragiro byo. Mu butuukirivu bwo mpa mbeere mulamu.
41
Ayi Mukama, ekisa kyo kintuukeko, n'obulokozi bwo nga bwe wasuubiza,
42
olwo ndibaako kye nnyanukula abansojja, kubanga nsuubira mu bigambo byo.
43
Ekigambo ky'amazima tokinzigyanga n'akatono mu kamwa, kubanga mu mateeka go mwe ntadde essuubi lyange.
44
Bulijjo nnaakwatanga etteeka lyo, emirembe gyonna.
45
Nnaatambulanga nga neetaaya, kubanga nnoonyereza ebiragiro byo.
46
Mu maaso ga bakabaka ndyogera ku by'oyigiriza, sigenda kukwatibwa nsonyi.
47
Kubanga nsanyukira mu biragiro byo; kubanga mbyagala.
48
Ndisitula emikono gyange eri ebiragiro byo bye njagala; ndyebuulirira ku tteeka lyo.
49
Jjukira ekigambo kye wagamba omuweereza wo, mwe wamuweera essuubi.
50
Ekinkubagiza mu kutoowazibwa kwange kye kino: nti ebisuubizo byo binzizaamu obulamu.
51
Abeekuza banvuma okuyitiriza, naye nze siwunjuka ku tteeka lyo.
52
Nzijukira ennamula yo, ayi Mukama, eya ddi na ddi, ne nkubagizibwa.
53
Obusungu bunkwata olw'abakola obubi, abo abaleka etteeka lyo.
54
Eteeka lyo lwe luyimba lwe nnyimba, mu nnyumba gye nalamagira.
55
Ayi Mukama, ekiro nzijukira erinnya lyo, era ndikwata etteeka lyo.
56
Eyo ye mpisa yange: ntuusa ebiragiro byo.
57
Omukama gwe mugabo gwange; nasuubiza okukwata ebigambo byo.
58
Nnoonya amaaso go n'omutima gwange gwonna, nsaasira nga bwe wasuubiza.
59
Nalowoolereza amakubo gange, ebigere byange ne mbizza ku by'oyigiriza.
60
Nnyanguwa, sijja kulwa mu kukwata ebiragiro byo.
61
Newandibadde ng'emiguwa gy'ababi ginzingirira, naye seerabira tteeka lyo.
62
Mu ttumbi nsituka okukugulumiza ku lw'ebiragiro byo ebituukirivu.
63
Ndi mukwano gwa bonna abakutya, n'abakwata ebiragiro byo.
64
Ayi Mukama, ensi ejjudde ekisa kyo; njigiriza amateeka go.
65
Ayi Mukama, omuweereza wo wamukolera bulungi, nga bwe wagamba.
66
Njigiriza ennamula entuufu n'amagezi, kubanga ebiragiro byo mbyesiga.
67
Nali sinnatoowazibwa, nagwa mu nsobi, naye kati bye wagamba mbikuuma.
68
Oli mulungi ne by'okola birungi, njigiriza amateeka go.
69
Newandibadde ng'abeekuza bampaayirizza, naye nze ntuusa ebiragiro byo n'omutima gwonna.
70
Emitima gyabwe gigubye, naye nze nsanyukira mu tteeka lyo.
71
Kirungi, wamma, nti natoowazibwa, njige amateeka go.
72
Etteeka ly'akamwa ko ddungi gy'endi n'okusinga enkumi za zaabu ne ffeeza.
73
Emikono gyo gyankola ne gimmumba, mpa okutegeera njige ebiragiro byo.
74
Abakutya bandabe basanyuke, kubanga nasuubira mu kigambo kyo.
75
Mmanyi, ayi Mukama, ng'amateeka go matuukirivu, nga wantoowaza mu mazima.
76
Ekisa kyo kinkubagize, nga bwe wasuubiza omuweereza wo.
77
Okusaasira kwo kuntuukeko, mbeere mulamu, kubanga etteeka lyo lye ssanyu lyange.
78
Abeekuza baswale olw'okumbonyaabonyeza obwereere, naye nze ndyebuulirira ku biragiro byo.
79
Abakutya bakyukire gye ndi, abo abategeera by'oyigiriza.
80
Omutima gwange gubuleko omusango ku tteeka lyo, nneme kuswala.
81
Omwoyo gwange guzirikira obulokozi bwo; nsuubira mu kigambo kyo.
82
Amaaso gange gayimbadde olw'okulindirira ebisuubizo byo, ne ŋŋamba nti: “Olinkubagiza ddi?”
83
Laba nfuuse ng'endyanga ezeetuzze olw'omukka, naye amateeka go sigeerabira.
84
Omuweereza wo anaalindirira kutuusa wa? Abanjigganya oligubasalira ddi?
85
Abeekuza bansimira obunnya, abo abatagoberera tteeka lyo.
86
Ebiragiro byo byonna byesigika, nnyamba, banjigganyiza bwereere.
87
Kata bansangulewo ku nsi, naye nze saava ku biragiro byo.
88
Olw'okusaasira kwo nkuuma nga ndi mulamu, nsobole okutuusa akamwa ko bye kayigiriza.
89
Emirembe gyonna, ayi Mukama, ekigambo kyo kyassibwawo mu ggulu.
90
Obwesigwa bwo bubeerawo mu mazadde n'amazadde, wassaawo ensi n'esigalirawo ddala.
91
Bisigalawo obudde bwonna nga bwe wasalawo, kubanga ebintu byonna biweereza ggwe.
92
Etteeka lyo teriba kubeera ssanyu lyange, singa naggwaawo dda mu kutoowazibwa kwange.
93
Emirembe gyonna siryerabira biragiro byo, kubanga mu byo mwe wampeera obulamu.
94
Ndi wuwo, ndokola, kubanga nanoonya ebiragiro byo.
95
Ababi bannindirira okunzikiriza, naye nze neefumiitiriza by'oyigiriza.
96
Buli ekituukiridde nakirabako enkomerero, naye ebiragiro byo tebiriiko kkomo n'akatono.
97
Ayi Mukama, nga njagala etteeka lyo, ndyebuulirirako olunaku lwonna.
98
Ebiragiro byo byanfuula mugezi okukira abalabe bange, kubanga emirembe gyonna biri nange.
99
Ndi mugezi n'okukira abanjigiriza, kubanga neebuulirira by'oyigiriza.
100
Ntegeera n'okusinga abakadde, kubanga ntuusa ebiragiro byo.
101
Natangira ebigere byange mu buli kkubo bbi, nkwate ekigambo kyo.
102
Sivanga ku nnamula yo, kubanga ggwe wanjigiriza.
103
Ebigambo byo nga biwoomera olulimi lwange, biwoomera akamwa kange n'okusinga omubisi gw'enjuki.
104
Nafuna okutegeera okuva mu biragiro byo, kyennava nkyawa buli kkubo lya bulimba.
105
Ekigambo kyo ye ttawaaza y'ebigere byange, kye kitangaala mu kkubo lyange.
106
Ndayidde era nkakasa okukuuma amateeka go amatuukirivu.
107
Ayi Mukama, mbonyeebonye nnyo, nzizaamu obulamu ng'osinziira ku kigambo kyo.
108
Ayi Mukama, kkiriza ettendo ly'akamwa kange lye neesiimidde, njigiriza amateeka go.
109
Bulijjo obulamu bwange buli mu kabi, naye seerabira tteeka lyo.
110
Aboonoonyi banteze ekitimba, naye siwunjuse ku biragiro byo.
111
By'oyigiriza bwe busika bwange emirembe gyonna; lye ssanyu ly'omutima gwange.
112
Omutima gwange ngumalizza ku kutuusa amateeka go, emirembe gyonna okutuusa ku nkomerero.
113
Nkyawa ab'enkulu ebbiri, kyokka njagala etteeka lyo.
114
Ggwe buddukiro bwange, engabo yange, nsuubira mu kigambo kyo.
115
Ababi, munsegulire, nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116
Mpanirira nga bwe wasuubiza, nnaaba mulamu; tonswaza mu kusuubira kwange.
117
Mpanirira, olwo nzija kulokoka; bulijjo nzija kufanga ku tteeka lyo.
118
Onyooma bonna abayawukana ku tteeka lyo, kubanga obukujjukujju bwabwe bwa bulimba.
119
Ababi bonna ku nsi obeerawo ng'ebisejja, nze kyenva njagala by'oyigiriza.
120
Omubiri gunkankana olw'okukutya, n'amateeka go ngatya.
121
Nakola ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu; tondeka mu mikono gy'abambonyaabonya.
122
Kuuma obulungi bw'omuweereza wo, abeekuza baleme kunnyigiriza.
123
Amaaso gange gayimbadde nga nnindirira obulokozi bwo, nga nninda ebisuubizo by'obutuukirivu bwo.
124
Omuweereza wo mukolere ng'ekisa kyo bwe kiri, onjigirize amateeka go.
125
Nze ndi muweereza wo, mpa okutegeera, mmanye by'oyigiriza.
126
Ayi Mukama, buno bwe budde okole, kubanga baayonoona etteeka lyo.
127
Kyenva njagala ebiragiro byo okukira zaabu, okukira zaabu omukuŋŋunte.
128
Kyenva ntwala ebiragiro byo byonna nga biruŋŋamu; nkyawa buli kkubo lya bulimba.
129
By'oyigiriza byewuunyisa, kyenva mbituusa.
130
Okulangirira ekigambo kyo kutangaaza; abatene kubawa okutegeera.
131
Njasamya akamwa kange ne ndookalooka, nga njaayaanira ebiragiro byo.
132
Kyukira gye ndi onsaasire, nga bw'oyisa abaagala erinnya lyo.
133
Ebigere byange birambike nga bwe wagamba, wabulewo obwonoonefu obunneefuga.
134
Nnunula mu kubonyaabonyezebwa abantu, nkwate ebiragiro byo.
135
Omuweereza wo mwakize amaaso go, njigiriza amateeka go.
136
Amaaso gange gattulukuka emyala gy'amaziga, kubanga tebakwata tteeka lyo.
137
Ayi Mukama, oli mutuukirivu, n'amateeka go maluŋŋamu.
138
By'oyigiriza wabissaawo mu butuukirivu, byesigikira ddala.
139
Muli okwagala kundyamu omwoyo, kubanga abalabe bange beerabira ebigambo byo.
140
Ebisuubizo byo byagezebwa ddala, omuweereza wo abyagala.
141
Newandibadde nga ndi muto, ngayibwa, ebiragiro byo sibyerabira.
142
Obutuukirivu bwo, butuukirivu bwa mirembe gyonna, n'etteeka lyo lya mazima.
143
Obuyinike n'ennaku byanzijira, naye ebiragiro byo lye ssanyu lyange.
144
By'oyigiriza bituukirivu emirembe gyonna; Mpa okutegeera, mbeere mulamu.
145
Nkowoola n'omutima gwonna, ayi Mukama, nnyanukula, nzija kutuusa amateeka go.
146
Njaziirana gy'oli, mponya, nzija kukwata by'oyigiriza.
147
Nkeera mu matulutulu ne mpanjaga, nsuubira mu kigambo kyo.
148
Amaaso gange gatunula ebisisimuka byonna eby'ekiro, neebuulirire ku bisuubizo byo.
149
Wulira eddoboozi lyange, ayi Mukama, olw'ekisa kyo; mpa obulamu ng'osinziira ku butuufu bwo.
150
Abannondoola n'enkwe embi bajja basembera, kyokka etteeka lyo baliri wala.
151
Naye ggwe oli kumpi, ayi Mukama, n'ebiragiro byo byonna bya mazima.
152
Ebbanga liweze nga mmanyi okusinziira ku by'oyigiriza nti wabiteekawo emirembe gyonna.
153
Laba ennaku zange, omponye, kubanga etteeka lyo siryerabidde.
154
Wolereza ensonga zange onnunule; mpa obulamu nga bwe wasuubiza.
155
Ababi obulokofu bubali wala, kubanga tebanoonya mateeka go.
156
Ekisa kyo kingi, ayi Mukama, mpa obulamu ng'osinziira ku butuufu bwo.
157
Bangi abanjigganya n'abalabe bange, kyokka saawunjuka ku by'oyigiriza.
158
Abayisa obubi mbatunuulira ne mbeetamwa, kubanga tebakuuma bye wasuubiza.
159
Laba, ayi Mukama, nga bwe njagala ebiragiro byo, mpa obulamu olw'ekisa kyo.
160
Buli kigambo kyo kyonna kya mazima, buli tteeka lyo ettuukirivu lya mirembe na mirembe.
161
Abafuzi banjigganya awatali nsonga, naye omutima gwange gutya ebigambo byo.
162
Nsanyukira ebisuubizo byo, ne mba ng'agwikirizza eby'obugagga enkumu.
163
Nkyawa era neenyinyala obulimba, kyokka etteeka lyo ndyagala.
164
Nkutenda emirundi musanvu mu lunaku olw'ennamula yo entuukirivu.
165
Abaagala etteeka lyo baba n'eddembe ddene, tebaba na we beesittala.
166
Nnindirira obulokozi bwo, ayi Mukama, era nkola by'olagira.
167
Omwoyo gwange gukwata by'oyigiriza, kubanga mbyagala nnyo.
168
Nkwata amateeka go ne by'oyigiriza, kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.
169
Omulanga gwange gukutuuke, ayi Mukama; mpa okutegeera nga bwe wagamba.
170
Okuwanjaga kwange kutuuke gy'oli; mponya nga bwe wasuubiza.
171
Emimwa gyange girifukumula ettendo lyo, kubanga onjigirizza amateeka go.
172
Olulimi lwange luyimba ekigambo kyo, kubanga ebiragiro byo byonna bituufu.
173
Omukono gwo gubeewo okunnyamba, kubanga nalondawo ebiragiro byo.
174
Njaayaanira obulokofu bwo, ayi Mukama; etteeka lyo lye ssanyu lyange.
175
Mpa mbeere mulamu nkutendenga, ne by'olagira bimpanirire.
176
Mbuze ng'endiga ewabye; noonya omuweereza wo, kubanga ebiragiro byo sibyerabira.
← Chapter 118
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 67
Chapter 68
Chapter 69
Chapter 70
Chapter 71
Chapter 72
Chapter 73
Chapter 74
Chapter 75
Chapter 76
Chapter 77
Chapter 78
Chapter 79
Chapter 80
Chapter 81
Chapter 82
Chapter 83
Chapter 84
Chapter 85
Chapter 86
Chapter 87
Chapter 88
Chapter 89
Chapter 90
Chapter 91
Chapter 92
Chapter 93
Chapter 94
Chapter 95
Chapter 96
Chapter 97
Chapter 98
Chapter 99
Chapter 100
Chapter 101
Chapter 102
Chapter 103
Chapter 104
Chapter 105
Chapter 106
Chapter 107
Chapter 108
Chapter 109
Chapter 110
Chapter 111
Chapter 112
Chapter 113
Chapter 114
Chapter 115
Chapter 116
Chapter 117
Chapter 118
Chapter 119
Chapter 120
Chapter 121
Chapter 122
Chapter 123
Chapter 124
Chapter 125
Chapter 126
Chapter 127
Chapter 128
Chapter 129
Chapter 130
Chapter 131
Chapter 132
Chapter 133
Chapter 134
Chapter 135
Chapter 136
Chapter 137
Chapter 138
Chapter 139
Chapter 140
Chapter 141
Chapter 142
Chapter 143
Chapter 144
Chapter 145
Chapter 146
Chapter 147
Chapter 148
Chapter 149
Chapter 150
Chapter 120 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66
67
68
69
70
71
72
73
74
75
76
77
78
79
80
81
82
83
84
85
86
87
88
89
90
91
92
93
94
95
96
97
98
99
100
101
102
103
104
105
106
107
108
109
110
111
112
113
114
115
116
117
118
119
120
121
122
123
124
125
126
127
128
129
130
131
132
133
134
135
136
137
138
139
140
141
142
143
144
145
146
147
148
149
150