bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
/
Ezekiel 7
Ezekiel 7
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 8 →
1
Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nti,
2
“Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensi ya Isirayiri nti: “ ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsonda ennya ez’ensi.
3
Enkomerero ebatuuseeko era ndibasumulurira obusungu bwange, ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekkive byonna bwe biri.
4
Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa; naye ndibasasula ng’engeri zammwe, n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. Mulyoke mumanye nga nze Mukama.’
5
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: “ ‘Okuzikirizibwa okutali kumu laba kujja.
6
Enkomerero etuuse, enkomerero etuuse! Ebagolokokeddeko era ejja.
7
Akabi kabajjidde, mmwe abatuuze. Ekiseera kituuse era olunaku luli kumpi, olunaku olw’okutya so si olw’okujaguliriza ku nsozi.
8
Nnaatera okubalaga obusungu bwange, n’ekiruyi kyange. Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri, ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.
9
Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa. Ndibabonereza ng’engeri zammwe bwe ziri n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe. Mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda, era mbonereza.
10
“ ‘Olunaku luuluno lutuuse. Akabi kabajjidde, obutali bwenkanya bumeze, n’amalala gamulisizza.
11
Obusungu bweyongedde ne bufuuka omuggo okubonereza obutali butuukirivu; tewaliba n’omu alisigalawo; tewaliba n’omu ku kibiina newaakubadde ku byobugagga byabwe, newaakubadde eky’omuwendo.
12
Ekiseera kituuse, n’olunaku lutuuse. Agula aleme okusanyukirira, n’oyo atunda aleme okunakuwala, kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
13
Atunda taliddizibwa kintu kye yatunda, bombi bwe banaaba nga bakyali balamu. Kubanga okubonerezebwa kuli ku kibiina kyonna so tekukyajulukuka. Era olw’ebibi byabwe tewaliba n’omu aliwonya obulamu bwe.
14
“ ‘Ne bwe balifuuwa ekkondeere ne bateekateeka buli kimu, tewaliba n’omu aligenda mu lutalo, kubanga obusungu bwange bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
15
Ebweru waliyo ekitala ne munda waliyo kawumpuli n’enjala. Abali ku ttale balifa kitala, abali mu kibuga balimalibwawo kawumpuli n’enjala.
16
N’abo abaliwonawo baliddukira mu nsozi, nga bakaaba nga bukaamukuukulu obw’omu biwonvu, buli omu olw’ebibi bye.
17
Emikono gyonna giriremala, n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.
18
Balyambala ebibukutu, ne bakwatibwa ensisi; baliswala, n’emitwe gyabwe girimwebwa.
19
“ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubalokola ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe. Era tebalikkuta newaakubadde okukkusibwa. Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
20
Ebintu byabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala, era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala ab’emizizo n’ebintu ebirala eby’ekivve, era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gye bali.
21
Ndibiwaayo byonna eri bannamawanga n’eri abakozi b’ebibi ab’omu nsi okuba omunyago era balibyonoona.
22
Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira, era balyonoona ekifo kyange eky’omuwendo; n’abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.
23
“ ‘Muteeketeeke enjegere kubanga ensi ejjudde omusango ogw’okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde effujjo.
24
Ndireeta eggwanga erisingirayo ddala okuba ebbi, ne batwala ennyumba zaabwe, era ndikomya amalala gaabwe n’ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
25
Entiisa bw’erijja, balinoonya emirembe naye tebaligifuna.
26
Akabi kalyeyongera ku kabi, ne ŋŋambo ne zeeyongera; balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi, naye okuyigirizibwa kwa kabona kulibula n’okubuulirira kw’abakadde kulyerabirwa.
27
Kabaka alikaaba, n’omulangira alijjula obuyinike, n’emikono gy’abantu mu ggwanga girikankana olw’entiisa. Ndibakolako ng’enneeyisa yaabwe bw’eri, era ndibasalira omusango ng’ensala yaabwe bw’eri. Balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.’ ”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48