bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
/
Jeremiah 27
Jeremiah 27
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 28 →
1
Ku ntandikwa y’obufuuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino kyajjira Yeremiya okuva eri Mukama:
2
Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti: “Weekolere ekikoligo okiteeke ku nsingo yo,
3
oweereze ekigambo eri bakabaka ba Edomu, ne Mowaabu, ne Ammoni, ne Tuulo ne Sidoni, ng’otuma ababaka abazze mu Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda.
4
Tumira bakama baabwe obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Kino mukitegeeze bakama bammwe.
5
N’amaanyi gange amangi n’omukono ogugoloddwa natonda ensi n’abantu baamu n’ensolo ezigiriko, era ngiwa omuntu yenna gwe njagala.
6
Kaakano ŋŋenda kuwaayo amawanga gammwe eri omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’ensolo ez’omu nsiko nzija kuziteeka wansi we.
7
Amawanga gonna galimuweereza ne mutabani we ne muzzukulu we okutuusa ekiseera eky’ensi ye okusalirwa omusango lwe kirituuka; olwo amawanga mangi ne bakabaka bangi ab’amaanyi balimuwangula.
8
“ ‘ “Naye singa eggwanga lyonna oba obwakabaka bwonna tebuliweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni oba okuteeka ensingo wansi w’ekikoligo ky’abwo, nzija kubonereza ensi eyo n’ekitala, n’ekyeya, ne kawumpuli, bw’ayogera Mukama, okutuusa lwe ndigizikiriza n’omukono gwange.
9
Noolwekyo bannabbi bammwe, n’abalaguzi, n’abavvuunuzi b’ebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka w’e Babulooni.’
10
Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira.
11
Naye singa eggwanga lirikutamya ensingo yaalyo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni limuweereze, nzija kuleka eggwanga eryo lisigale mu nsi yaalyo, okugirima, n’okugibeeramu, bw’ayogera Mukama.” ’ ”
12
Nategeeza obubaka bwe bumu eri Zeddekiya kabaka wa Yuda nga ŋŋamba nti, “Kutamya ensingo yo wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni, beera omuddu we n’abantu be, onoobeera mulamu.
13
Lwaki ggwe n’abantu bo mufa ekitala, n’ekyeya ne kawumpuli Mukama by’agambye okutuuka ku nsi yonna eteefuuke muddu wa kabaka w’e Babulooni?
14
Towuliriza bigambo bya bannabbi abakugamba nti, ‘Tolibeera muddu wa kabaka w’e Babulooni,’ kubanga bakutegeeza bya bulimba.
15
‘Sibatumanga,’ bw’ayogera Mukama. ‘Bawa obunnabbi bwa bulimba mu linnya lyange. Noolwekyo, nzija kubagobera wala muzikirire, mmwe ne bannabbi ababategeeza obunnabbi.’ ”
16
Olwo ne ŋŋamba bakabona n’abantu bano bonna nti, “Kino Mukama ky’agamba nti, Temuwuliriza bannabbi abagamba nti, ‘Amangu ddala ebintu by’omu nnyumba ya Mukama bijja kukomezebwawo okuva mu Babulooni.’ Bababuulira bunnabbi bwa bulimba.
17
Temubawuliriza. Muweereze kabaka w’e Babulooni, mubeere balamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo?
18
Bwe baba bannabbi nga balina ekigambo kya Mukama, leka bakaabirire Mukama Katonda ow’Eggye nti ebintu eby’omuwendo ebikyasigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme kutwalibwa Babulooni.
19
Kubanga bw’ati Mukama Katonda ow’Eggye bw’ayogera ku mpagi, n’Ennyanja, okuteekebwa ebintu, n’ebintu ebirala ebisigadde mu kibuga kino,
20
kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni by’ataatwala lwe yatwala Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi.
21
Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ku bikwata ku bibya ebyasigala mu nnyumba ya Mukama ne mu lubiri olwa kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti,
22
‘Biritwalibwa mu Babulooni eyo gye birisigala okutuusa ku lunaku lwe ndibikima, olwo ndibikomyawo mbizze mu kifo kino,’ ” bw’ayogera Mukama.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52