bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 John 1
1 John 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Ekyabaawo okuva ku lubereberye, kye twawulira, kye twalaba n'amaaso gaffe, kye twatunuulira, era engalo zaffe ze kya kwatako, ebya Kigambo eky'obulamu.
2
Obulamu obwo bwalabisibwa, naffe ne tubulaba, era tubategeeza, era tububabuulira mmwe obulamu obwo obutaggwaawo, obwabaawo awali Kitaffe ne bulabisibwa gyetuli.
3
Kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo;
4
n'ebyo tubiwandiika ffe, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
5
Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye temuli kizikiza n'akatono.
6
Bwe twogera nga tussa kimu naye ne tutambuliranga mu kizikiza, tulimba ne tutakola mazima;
7
naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw'ali mu musana, tussa kimu fekka na fekka, n'omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna.
8
Bwe twogera nga tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n'amazima tegali mu ffe.
9
Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.
10
Bwe twogera nga tetwonoonanga, tumufuula mulimba, so nga n'ekigambo kye tekiri mu ffe.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5