bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 John 1
2 John 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
1
Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n'abaana be nze be njagala mu mazima; so si nze nzekka, era naye ne bonna abamanyi amazima;
2
olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe.
3
Ekisa, okusaasira, n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala.
4
Nsanyuse nnyo kubanga nnaasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga bwe twalagirwa Kitaffe.
5
Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka.
6
Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu.
7
Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo.
8
Mwekuumenga muleme okubulwa emirimu gye twakola, naye muweebwe empeera ennamba.
9
Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda, abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana.
10
Omuntu yenna bw'ajjanga gye muli n'ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga,
11
kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi.
12
Newakubadde nga nnina ebigambo bingi okubawandiikira, ssaagala kubiwandiika ku lupapula ne bwino, naye nsuubira okujja gye muli, n'okwogera nammwe akamwa n'akamwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
13
Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1