bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
3 John 1
3 John 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
1
Nze omukadde mpandiikira Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2
Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'Omwoyo gwo bwe gubeera obulungi.
3
Kubanga nnasanyuka nnyo ab'oluganda bwe bajja ne bategeeza amazima go, nga ggwe bw'otambulira mu mazima.
4
Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira nga abaana bange batambulira mu mazima.
5
Omwagalwa, gya bwesigwa emirimu gyo gyonna gyonna gy'okolera ab'oluganda naddala abagenyi;
6
abaategeeza okwagala kw'omu maaso g'ekkanisa. Onooba okoze bulungi bw'onoobatuma okweyongerayo mu lugendo lwabwe nga bwe kisaanira obuweereza bwa Katonda.
7
Kubanga baavaayo olw'Erinnya lye, nga tebakkiriza kuweebwa kintu kyonna okuva mu b'amawanga.
8
Kale kitugwanidde okusembezanga abali ng'abo tulyoke tukolenga omulimu gumu n'amazima.
9
Nnawandiikira ekkanisa ekigambo; naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza.
10
Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'atwogerako ebigambo ebibi ebitaliimu. So n'ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba ne mu kkanisa.
11
Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi, akola obulungi ye wa Katonda, akola obubi nga talabanga Katonda.
12
Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini gaakikakasa, era naffe tukitegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima.
13
Nnalina ebigambo bingi okukuwandiikira, naye saagala kukuwandiikira na bwino na kkalaamu.
14
Nsuubira okukulaba amangu, era tulyogera akamwa n'akamwa.
15
Emirembe gibenga gy'oli. Mikwano gyo bakulamusizza. Lamusa n'abemikwano ng'amannya gaabwe bwe gali.
Jump to:
Chapter 1
All chapters:
1